TOP

Enock Bamula; Yateeba ggoolokipa munne omupiira ne guyiika

Added 8th August 2013

WIIKI ewedde omukwasi wa ggoolo y'Embogo, Henry Majwega yateebye Ennyonyi ng'asiinziira mu ntabwe. Ono si yasoose kuba ne mu 1980, Enock Bamula yakola ekintu kye kimu nga Simba ezannya Express.



WIIKI ewedde omukwasi wa ggoolo y'Embogo, Henry Majwega yateebye Ennyonyi ng'asiinziira mu ntabwe.

Ono si yasoose kuba ne mu 1980, Enock Bamula yakola ekintu kye kimu nga Simba ezannya Express. SHABAN LUBEGA yamutuukiridde era akutuusaako ky'aliko mu kiseera ekino.

Nazaalibwa nga September 27,1958 Ewabakuli mu Kampala. Taata ye mugenzi Yosam Zirimmenya ate maama ye Florence Kisembo ow'e Kikumba mu Fort Portal.

Nakoma mu P.7 gye natuulira e Namungoona P/S. Eno nnali mu ttiimu y'essomero era okuva mu P.6 nga nze mbakwatira

Atandika omupiira:
Bwe nava mu ssomero ne ntandika okukanika wabula ng'olweggulo nsamba omupiira. Nneegatta ku American Insurance mu 1971 era eno gye nasambira ne Tom Lwanga.

Oluvannyuma lw'emyaka ebiri Bidandi Ssali yatutwala mu KCC gye nasanga Jimmy Kirunda ne George Mukasa. Wabula ebiseera ebisinga natuulanga ku katebe ne nsalawo nzire mu Co-operative mu 1976.

Tugaanibwa okuzannya mu Super:
Co-operative yawangula empaka za First Division mu 1977 ng'erina okwegatta mu Super naye twalemwa okusamba omupiira ogw'omukwano ne KCC ne batubonereza na kutuzzaayo mu kibinja ekisooka.

Kino kyamalamu abazannyi amaanyi era Co-operative n'eggwaawo, olwo nze ne ng'enda mu Lint FC mu 1978.

Yeegatta ku Express:
Mu 1980 nneegatta ku Express, kyokka ne yeeyawulamu abamu ne bagenda mu Nakivubo Boys, nze ne nsigala mu gye twayitanga 'origino.'

Mu Express waaliyo abakwasi ba ggoolo bana nga buli omu akwata omupira gumu gumu. Nnalaba ekitone kyange kifa olw'obutakwata, ne ng'enda mu Simba eyali mu kibinja ekisooka.

Twawangula ekikopo kya Jess Owens mu 1983 nga nze nkwata. Twayita mu Zonal ne Super Mini nga mupiira ne twegatta mu kibinja kya Super.

Mu Simba, naliyo ne Charles Musoke, Paul Kisuule ne Reymond Akiror, wabula omwaka gwaffe ogwasooka mu Super tegwali mwangu era twamalira mu kyamunaana.

Ggoolo y'ebyewuunyo:
Mu October 1980 nga tuttunka ne Express, nagabira eyali kapiteeni wange, George Otto omupiira naye waliwo omuteebi wa Express eyali ayagala okugumuggyako n'agusamba ne gunzilrra.

Amateeka ga 'back pass' gaali tegaliiwo ng'osobola okugikwasa engalo era olwagufuna ne ngukwata ne ngusimula ne gugenda butereevu mu ggoolo ya Express eyalimu Steven Ssegujja.

Eky'ennaku omupiira guno tegwaggwa kuba abawagizi ba Express baakanyuga amayinja mu kisaawe oluvannyuma lw'okubateeba ggoolo eyookubiri.

Oluvannyuma lwa Gavumenti ya NRM okuwamba obuyinza mu 1986, Simba yaggyibwawo olwo ne nneegatta ku KK Cosmos eyali etendekebwa Kasujja ate Otto ne Dramani ne bagenda mu Villa.

Twazannya mu Zonal League ne tukwata ekisooka olwo ne tugenda mu kib¬inja ekisooka nayo gye twakulemberera.

Amateeka mu mupiira:
Abatwala omupiira mu ggwanga baakyusa amateeka ng'abakulembedde abasatu mu kibinja ekisooka balina okuzannya abasembye abasatu mu Super.

Lwali lusozi lwa maanyi era tetwasobola kuyitamu kuba twali baakusatu olwo ttiimu zonna ezaali zirina okusalwako ne zisigala mu Super . KK Cosmos nayo yasaanawo olw'ebbula ly'ensimbi ezigiddukanya, ate olwo ne nzi¬rayo mu Simba eyali etuuumiddwa Resistance FC.

Mu Simba nnamalayo emyezi mukaaga ne nvaayo kuba amaka gaayo gaali gazze Jinja nga gye bava okuggya e Kampala okuzannya omupiira.

Ava ku mupiira:
Obuvunaanyizibwa bwali bungi ku ludda lwange mu kiseera ekyo era ne nsalawo omupiira nguveeko. Nasalawo nneemalire ku bwamakanika ng'omulimu gwange ogw'olubeerera.

Obubaka:
Abazannyi b'ennaku zino batekeemu amaanyi n'obwagazi kuba kati omupiira gusobola okukubeezaawo omuntu singa mu biseera byaffe abasambiranga ebitole by'emmere.

Gavumenti nayo eveeyo eyiwe omusimbi mu mizannyo olwo Uganda lw'eneekulaakulana mu mizannyo.

  • Omusambi gwe yasinga okwegomba ye Phillip Omondi ate omukwasi wa ggoolo, Emmanuel Mwape (eyali owa Zambia).
  • Awagira Liverpool.
  • Mu baana be abalenzi 7, temuli yeegomba kusamba mu¬piira.

 

Enock Bamula; Yateeba ggoolokipa munne omupiira ne guyiika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...