TOP

Kiprotich ne banne boolekedde Russia kuwangula midaali

Added 13th August 2013

ABADDUSI ba Uganda 3 ab'embiro empanvu nga bakulembeddwa Stephen Kiprotich enkya ya leero basibuudwa mu butongole ne boolekera Moscow, Russia okwegatta ku bannaabwe abali mu mpaka z'ensi yonna eziyindira mu ggwanga lya Russia.



Bya Stephen Mayamba ne Teddy Nakanjakko

ABADDUSI ba Uganda 3 ab'embiro empanvu nga bakulembeddwa Stephen Kiprotich enkya ya leero basibuudwa mu butongole ne boolekera Moscow, Russia okwegatta ku bannaabwe abali mu mpaka z'ensi yonna eziyindira mu ggwanga lya  Russia.

Abraham Kiprimo, Jackson Kiprop ne Stephen Kiprotich be bagenda okukiikirira Uganda mu mpaka z'okwetoloola ebyalo egigenda okukomekkereza empaka z'ensi yonna eziyindira mu Moscow ekya Russia nga zaakukomekerezebwa nga ku Ssande nga 18.

Ng'abasiibula Jasper Aligawesa ssaabawandiisi w'ekibiina ekitwala emizannyo mu ggwanga ekya National Council Of Sports abakuutidde obutayiwaayo ggwanga nga bakomewo n'emidaali.

Embeera y'obudde e Russia etereddemu

Oluvannyuma lw'abaddusi abeetoloola ebyalo abakazi okukosebwa ennyo omusana n'ebbugumu ebiyitiridde nga badduka ku Ssande, ab'enteebereza y'obudde mu Moscow bagamba nti obudde buyinza okulongookamu nga temuli bbugumu na musana ku Lwomukaaga, Stephen Kiprotich ne banne lwe badduka.

Omusana omungi nga kw'otwalidde n'ebbugumu ebiri mu Moscow byeraliikiriza omutendesi wa ttiimu ya Uganda Benjamin Longiros ng'agamba nti obudde bwe bunaabeera bwe buti ku Lwomukaaga kijja kubakosa nnyo.

Wabula singa ebiva mu ofiisi y'enteebereza y'obudda binaatuukirira awo abaddusi bano abatuuka enkya ku Lwokusatu mu Moscow bajja kufuna byekwaso birala.

Ttiimu ya Uganda ey'okwetoloola ebyalo oba ziyite Marathon nga gino emisinde gya kiromita 42 erimu Stephen Kiprotich eyawangula Zaabu mu olympics, Abraham Kiplimo ne Jackson Kiprop.

 

Kiprotich ne banne boolekedde Russia kuwangula midaali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...