
Bya HASFAH SSONKO
Leero mu gw’omukwano:
Misiri – Uganda, 11:30
September 7 mu World Cup:
Senegal - Uganda
OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevich aweze okufiira ku Misiri agiggyeko obuwanguzi mu mupiira gwa leero ogw’okuzannyibwa ku kisaawe kya El-Gouna.
Mu mipiira etaano egisembyeyo nga Uganda esisinkanye Misiri, Misiri y’ebadde ewangula nga ku luno Micho awera kumalawo jjoogo.
“Ttiimu yange kati kabiriiti era nnina essuubi nti egenda kuggya obuwanguzi ku Misiri kuba bwe kiba kiso, kino kye kigenda okubaaga Senegal omwezi ogujja mu z’okusunsulamu abaneetaba mu World Cup, ” Micho bwe yategeezezza.
Wabula omutendesi wa Misiri, Bob Bradley alabudde Uganda obuteeyibaala kuba amaze wiiki nnamba ng’alaba obutambi obulaga Uganda bw’ezannya nti ne ku luno obuwanguzi bwayo.
“Tumaze wiiki nga twetegereza enzannya ya Uganda naddala ng’esamba Angola era ffe tulaba ng’abaafunye
edda obuwanguzi,” Bradley bwe yakkaatirizza.
Mu nsisinkano 16 okuva mu 1962, Uganda yaakawangula Misiri omulundi gumu gwokka (mu 1965) ate Misiri ewanguddeko 12.
Abawagizi 1,000 bokka be bakkiriziddwa okulaba omupiira guno mu kisaawe kya El Gouna ekituuza abantu 12,000 olw’ebyokwerinda.
Abasuubirwa okutandika mu Cranes kuliko: D. Onyango, N. Wadada, G. Walusimbi, I. Isinde, A. Mwesigwa, Hassan Wasswa, D. Guma, T. Mawejje, M. Mutumba, Geoffrey Massa ne E. Okwi.
Cranes ya Micho erumbye Misiri na kiruyi