TOP

Engabi yeesunga kutomera ndiga ku Lwomukaaga

Added 13th September 2013

AB’ENGABI bongedde okwenyweza mu kaweefube w’okweddiza engabo oluvannyuma lw’omukwasi wa ggoolo, Hamza Muwonge, okudda okuva mu ttiimu ya Cranes ebadde evuganya mu gy’okusunsulamu abanaasamba World Cup ya Brazil 2014.



 BYA SILVANO KIBUUKA       13/9/2013       

Lwamukaaga:
Ngabi Nsamba v Ngeye Nakivubo ku ssaawa 10:00
AB’ENGABI bongedde okwenyweza mu kaweefube w’okweddiza engabo oluvannyuma lw’omukwasi wa ggoolo, Hamza Muwonge, okudda okuva mu ttiimu ya Cranes ebadde evuganya mu gy’okusunsulamu abanaasamba World Cup ya Brazil 2014.
Omutendesi Sula Kato ategeezezza nti tagenda kukola nkyukakyuka nnene mu ttiimu okuggyako okuzza Muwonge mu ggoolo era ng’abasambi bonna bali mu mbeera nnungi.
Engabi Ensamba yakuba Engeye ggoolo 2-0 mu luzannya olwasooka.
“Tetusambira ku puleesa. Twagala kuwangula mupiira gwa leero nga tetutunuulidde buwanguzi obwasooka,” Omutendesi Kato bwe yategeezezza.
Wabula omumyuka w’omutendesi w’Engeye Paul Kiwanuka yagambye nti teri kitasoboka kubanga ttiimu ye agyesiga.
“Empindi yavudde emabega n’eggyamu Embogo eyawangula olusamba olwasooka. Naffe tulina emikisa gyonna okuggyamu Engabi kubanga wadde be batukyazizza, Nakivubo tetuli bapya era tebalina nkizo ku kisaawe,” Kiwanuka bwe yategeezezza.
Engeye yasembye kuwangula Bwakabaka bwa Tooro mu gw’omukwano ggoolo 1-0 wiiki ewedde.

Engabi yeesunga kutomera ndiga ku Lwomukaaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.