TOP

SC Villa ekomyawo Walusimbi

Added 14th September 2013

OMUZIBIZI wa Cranes, Godfrey ‘Jjajja Waalu’ Walusimbi ali ku ndeboolebo ya kudda mu SC Villa eyamukuza singa ttiimu ya FC Don Bosco eya DR Congo emuwa ebbaluwa emukkiriza okuddamu okuzannyira mu Uganda.



Bya Hussein Bukenya ne David Kibanga


OMUZIBIZI wa Cranes, Godfrey ‘Jjajja Waalu’ Walusimbi ali ku ndeboolebo ya kudda mu SC Villa eyamukuza singa ttiimu ya FC Don Bosco eya DR Congo emuwa ebbaluwa emukkiriza okuddamu okuzannyira mu Uganda.

Agava mu Villa gagamba nti Walusimbi yamalirizza okukkaanya n’abakungu ba ttiimu eyo wabula nga kalumanywera asigadde ku Don Bosco kumuta.

Walusimbi, yeegatta ku Don Bosco mu January w’omwaka oguwedde n’assa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri kyokka nga tannazannyako bbanga liwera, yafuna obutakkaanya nabo ekyamuwaliriza okusuulawo ttawulo nga mu kaseera kano abadde talina ttiimu.

“Njagala kuzannya mupiira nfune ffoomu enzizaayo ku pulofeesono. Villa y’endi ku mutima era sigenda kufa ku bya ssente ze nsasulwa. Mmanyi nti (Villa) esobola okunta singa nfuna ttiimu endala,” Walusimbi bwe yategeezezza.

Gye buvuddeko, Walusimbi ne Emma Okwi baatuukirira FUFA nga baagala ebayambe okufuna ebbaluwa (ITC) baddemu okuzannyira mu liigi ya Uganda.

Omwogezi wa FUFA, Rogers Mulindwa yategeezezza nti abazannyi bombi baabatuukirira era ensonga zaabwe bazikolako.

Villa eyagala Okwi:
Omutendesi wa Villa, Steven Bogere agamba nti babadde baagala n’okukomyawo Okwi kyokka obuzibu bukyali ku ssente Etoile du Sahel eya Tunisia, (Okwi mw’azannyira) z’esaba. Bogere agamba nti Okwi babadde baayogedde naye abazannyire.

Kato avudde mu Vipers:
Mu ngeri y’emu, omu ku babadde basakirira Vipers, Lawrence Kato agisuddewo era kati anoonya ttiimu gy’ayinza kugula mu Big League.

Ensonda mu Vipers zigamba nti okuva ttiimu eyo lwe yakubwa Victoria University ku fayinolo za Uganda Cup sizoni ewedde, Kato taddangamu kulinnyayo ate nga yasiibangayo sizoni ewedde.
Omuwandiisi wa ttiimu eno Haruna Kyobe yategeezezza nti Kato baludde okumulaba ku ttiimu yaabwe kyokka tebafunangako bbaluwa eraga nga bw’avudde ku mulimu ogwo.

SC Villa ekomyawo Walusimbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.