TOP

VILLA EBULAMU NZE: Okwi yeeyamye okuwa abawagizi ebikopo

Added 19th October 2013

BW’OLABA amaanyi g’ateekamu mu kutendekebwa n’engeri gy’akwataganyeemu ne banne mu nnaku essatu ze yaakatendekebwa ne Villa, toyinza kuwakanya bigambo bya Emma Okwi.Bya DAVID KIBANGA NE HUSSEIN BUKENYA
BW’OLABA amaanyi g’ateekamu mu kutendekebwa n’engeri gy’akwataganyeemu ne banne mu nnaku essatu ze yaakatendekebwa ne Villa, toyinza kuwakanya bigambo bya Emma Okwi.

Eggulo (Lwakutaano), ng’okutendekebwa kwa SC Villa kuwedde, Okwi yaweze okuzza Villa ku maapu eddemu okuvuganya ku bikopo ebbanga ly’anaamala ng’agizannyira.

“Wadde nga ndudde okuzannya omupiira, ndi ffi iti ekimala era ndi mwetegefu okuyamba ku ttiimu yange okuwangula emipiira egigisobozesa okuwangulayo ekikopo sizoni eno,” Okwi bwe yategeezezza.

Okwi omupiira yagutandikira mu Villa era y’omu ku bazannyi abayise mu Villa ento (Jogoo Young). Mu 2008, Villa yamutunda mu Simba eya Tanzania gye yava okwegatta ku Etoile du Sahel eya Tunisia.

Wadde nga URA nayo ebadde eyagala kumutwala, Okwi yasazeewo kugenda mu Villa oluvannyuma lw’okufuna olukusa lwa FIFA olumuta okuva mu Sahel.

Wabula wadde biri bityo, waliwo ekigambibwa nti kitunzi we Godfrey Kayemba ali mu kumunoonyeza kiraabu endala ebweru wa Uganda era kisuubirwa nti ayinza okugenda okugezesebwa ku Mmande ya wiiki ejja kyokka bino byonna Okwi abisambajja.

Okwi yagambye nti Villa ekyali ya maanyi era agenda kugisitula.

VILLA EBULAMU NZE: Okwi yeeyamye okuwa abawagizi ebikopo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.