TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • KIPROTICH: Alwana kudda na bukadde 170 mu mbiro z'e New York

KIPROTICH: Alwana kudda na bukadde 170 mu mbiro z'e New York

Added 3rd November 2013

KYAMPIYONI w’ensi yonna mu mbiro z’okwetooloola ebyalo, Stephen Kiprotich, leero (Ssande) ayingira ensiike mu mpaka za ING New York City Marathon ezikomekkereza sizoni y’emisinde mu kibuga New York mu Amerika.Bya TEDDY NAKANJAKKO

KYAMPIYONI w’ensi yonna mu mbiro z’okwetooloola ebyalo, Stephen Kiprotich, leero (Ssande) ayingira ensiike mu mpaka za ING New York City Marathon ezikomekkereza sizoni y’emisinde mu kibuga New York mu Amerika.

Okuva mu August lwe yawangula zaabu mu z’ensi yonna e Moscow, Kiprotich abadde mu kutendekebwa okwa kaasammeeme mu nsozi za Kiptagat e Kenya ng’eno gye yavudde okwolekera Amerika okuttunka n’abaddusi abalala ab’amannya mu misinde gino bonna abeesomye okumulemesa okuddamu okuwangula zaabu.

Mu bagenda okuteekawo okuvuganya okwa maanyi kuliko; Firehiwot Dado (Ethiopia), Bannakenya Geoffrey Mutai, Wilson Kipsang eyakoze likodi y’ensi yonna e Berlin) ne Dennis Kimetto eyawangula ez’e Chicago.

Okusinziira ku mukutu gw’ekibiina ky’emisinde mu nsi yonna ogwa www.iaaf.org, Kiprotich ye muddusi yekka mu mpaka zino eyaakawangula Olympics ne World Championships nga ziddiring’ana era atunuuliddwa nnyo mu mpaka zino.

Wabula Kiprotich agamba nti akimanyi nti bamukoleredde naye mwetegefu okubanywesa amazzi.

Jackson Kiprop, eyamuyamba okukooya abaddusi abaali beesomye okumulemesa ez’e Moscow, waakumuyamba nga bwe gwali e Moscow era basuubirwa okudduka bombiriri.

Abaddusi 48,000 okuva mu mawanga ag’enjawulo mu biti eby’enjawulo be bali mu nsiike ng’omuwanguzi waakusitukira
mu doola 65,000 (mu za Uganda obukadde 170).

Singa Kiprotich aziwangula, ajja kuba amenye likodi y’omuddusi asoose okuwangula empaka ez’omuzinzi essatu egiddiring’ana (Olympics, World Championship n’eza New York.

KIPROTICH: Alwana kudda na bukadde 170 mu mbiro z’e New York

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...