Bya WILLIAMS D. KIBANGA
OMUTENDESI w’omupiira, Matia Lule, asekera mu ttabi lya ngalo oluvannyuma lw’okuwangula omusango gwe yawawaabira KCC FC ogw’okumugoba ku mulimu mu bukyamu.
Omulamuzi Julia Lucy Acio, owa kkooti ento e Mmengo ye yalagidde KCC okuliyirira Matia Lule ssente ezisukka mu bukadde 30 olw’okumugoba mu bukyamu.
Lule yagobwa mu November 2011 n’asaba KCC emuliyirire kyokka abakungu baayo ne bagaana nti ye (Lule) KCC FC ye yamuwa omulimu sso si KCCA, etwala ttiimu eno kati.
Lule, ng’ayita mu looya we, Geoffrey Nsamba, yakiwakanya nti KCCA yakyusa bukyusa linnya naye ye yamuwa omulimu, omulamuzi kye yakkirizza nti ddala ttiimu eno eri wansi wa kitongole kya KCCA n’alagira KCC okusasula omuwaabi ssente zonna z’ayonoonedde ku musango guno.
Oluvannyuma lwa Matia Lule okugobwa, KCC yamusikiza eyali omumyuka we, Morley Byekwaso, naye oluvannyuma eyasikizibwa George Nsimbe, eyawangula ekikopo kya liigi ya babinywera.
Matia Lule eyagobeddwa ku butendesi bwa KCC asaba obukadde 30