TOP

Cranes ya Micho erimu ebituli

Added 25th November 2013

CRANES esitudde olwaleero (Mmande) okwolekera ekibuga Nairobi okwetaba mu mpaka za CECAFA ezitandika ku Lwokusatu, era omutendesi Micho Sredojevich yayungudde ttiimu ya bazannyi 20 okwetaba mu kikopo kino Cranes kye yasitula omwaka oguwedde e Kampala.



Bya WILLIAMS DAVID KIBANGA
CRANES esitudde olwaleero (Mmande) okwolekera ekibuga Nairobi okwetaba mu mpaka za CECAFA ezitandika ku Lwokusatu, era omutendesi Micho Sredojevich yayungudde ttiimu ya bazannyi 20 okwetaba mu kikopo kino Cranes kye yasitula omwaka oguwedde e Kampala.

Micho y'ekubye 'endobo': Mu kusooka, Micho yalangirira nga bw'atagenda kuzannyisa bapulofeesono, kyokka okusinziira ku ttiimu gy'atutte mulimu bana.
Micho yagamba nti mu CECAFA agenda kugezesa ttiimu gy'agenda okukozesa mu mpaka za CHAN
ezizannyibwa omwaka ogujja.

Mu CHAN muzannyibwamu bazannyi bokka abaguzannyira awaka era kyali kisuubirwa nti CECAFA
egenda kuyamba okuggumiza ttiimu eno.

Khalid Awucho (Tusker), Dan Sserunkuma (Gor Mahia), Hamis Kiiza (Yanga) ne Geoffrey Kizito 'Baba' (atalina ttiimu mu kaseera kano) be bamu ku bapulofeessono be yatutte.

Lwaki atutte Baba?
Kizito 'Baba' amaze emyezi egisoba mu 3 nga tazannya mupiira gwa kigendererwa oluvannyuma
lwa liigi y’e Vietnam okuggwa mu August.

Ttiimu yaabwe eya Sai Gon yazzibwayo mu kibinja kya wansi era okuva olwo ye ne Moses Oloya bali mu kuyigga ttiimu.

Kizibu okumanya oba nga Micho 'Baba' yamulabidde mu kutendekebwa okutuuka okumwesiga
n'amutwala e Nairobi.

Ku gwa Rwanda, Micho yazannyisa Oscar Agaba mu 'kinnya' era yazannya bulungi kyokka ku ttiimu egenda yamusudde.

Micho eby'okuzimba yabivuddeko, ali ku puleesa y'ebikopo ,era bw'otunuulira ttiimu gye yatutte, tolemwa kulowooza nti yeegasse ku Bobby Williamson eyalondanga ttiimu olw'enjala y'ebikopo n'okwongera ku byafaayo bye.

Okuleeta Sserunkuma ne Kiiza ng'abateebi n'oleka Tony Odur (akulembedde abateebi) ne Frank Kalanda Micho gw'abadde agezaako okukuza mu nnamba eno, kiraga nti eby'okutegeka ttiimu ye bwe yabivuddeko n’adda ku njala y'okufuna ebikopo.

Cranes eggulawo ne Rwanda: Ku Lwokutano, Cranes yaakuddamu okubwefuka ne Rwanda bwe banaaba baggulawo empaka zino.

Mu gwasoose ogw'omukwano, baagudde amaliri (0-0) mu kisaawe e Namboole.
Ttiimu eyagenze:
Benjamin Ochan (Victoria Univ), Ismael Watenga (Vipers), Franco Oringa (BIDCO), Julius Ntambi (Kira Young), Nicholas Wadada (Vipers), Isaac Muleme (Victoria Univ), Richard Kassagga (Kira
Young), Ayub Kiiza (KCC), Martin Mpuuga (Victoria Univ), Khalid Aucho (Tusker), Geoffrey Kizito
(talina ttiimu), Saidi Kyeyune (URA), Brian Majwega (KCC), Vicent Kayizzi (Vipers), Hamis Kiiza
(Yanga), Emma Okwi (SC Villa), Dan Sserunkuma (Gor Mahia)

Cranes ya Micho erimu ebituli

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...

Nnabagereka wa Buganda yeet...

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda yeetabye ku mukolo gw'okuwerekera omwoyo gw'omugenzi Dr. Cyprian Kizito...