TOP

Cranes eyagala kikopo kya 14

Added 27th November 2013

LEERO empaka za CECAFA lwe ziggyibwako akawuuwo e Kenya, naye obadde omanyi engeri gye zaatandikamu?



Bya  DAVID KIBANGA

Leero mu CECAFA;

Zanzibar - South Sudan, 8:00

Kenya - Ethiopia, 10:30

Ku Lwokutaano: 

Cranes - Rwanda, 10:00

LEERO empaka za CECAFA lwe ziggyibwako akawuuwo e Kenya, naye obadde omanyi engeri gye zaatandikamu?

CECAFA Senior Challenge Cup kye kikopo ekisinga obukulu ku lukalu lwa Afrika era kiri wansi w'empaka ezaakakasibwa FIFA. 

Empaka zino zaasooka kumanyibwa nga Gossage Cup nga zaatandika mu 1926 era Kenya ye yasooka okuziwangula.

 Wakati wa 1960-1966 tiimu ezaatukaanga ku fayinolo zaakigabananga naye oluvannyuma kino kyaggyibwawo. 

Mu 1967, kyakyusa erinnya ne kifuulibwa Senior Challenge Cup, kyokka bwe baakola ekibiina ekimanyiddwa nga CECAFA okugatta amawanga agava mu buvanjuba ne mu masekkati ga Afrika mu 1973, kwe kufuulibwa CECAFA Senior Challenge Cup. Uganda y'eyaakasinga okukiwangula  (emirundi 13). 

Nicholas Musonye ye Ssaabawandiisi w'ekibiina kya CECAFA era kumpi y'asinga okukiddukanya wadde nga kirina pulezidenti, Leodgar Tenga, eyali akulira omupiira e Tanzania. Ekitebe kyakyo kisangibwa mu kibuga Nairobi  ekya Kenya. 

Ttiimu ezitunuuliddwa okukiwangula:

Uganda; Wadde Cranes ey'omulundi guno nnafuko, teri muntu atatya nnantamegwa ate ng'era ye yakasinga okukiwangula. 

Kenya; Omwaka oguwedde be baatuuka ku fayinolo ne Cranes era olw'okuba nti bali waka, toyinza butababalira ku kikopo.

Ethiopia; ku ttiimu eyazannye ne Nigeria mu z'okunsulamu abalyetaba mu World Cup omwaka ogujja, omutendesi waabwe Bishaw azze n'abazannyi 7 kyokka eggwanga lino limaze okulaga ensi yonna nga bwe lirina ebitone n'enzannya entongole 'ey'akawoowo'.

Amaanyi ga Cranes:

Be balina ekikopo kino era  ttiimu zonna eziri mu mpaka zigenda kulumba Cranes nga zirimu ebitengo. Mu kukiwangula, Cranes yakuba Kenya (abategesi) ggoolo 2-1 sso nga ku semi yaggyamu Rwanda. Toyinza kulumba nnantameggwa nga tonywedde, olina okusooka okwetereereza ddala.

Si nsobi nti Uganda y'esinza ebikopo bino kyokka kivudde ku bitone ebiyitirivu ebijjudde mu ggwanga lino. Uganda yaakawangula CECAFA emirundi 13, Kenya egiddiridde (5), wabula ekisinga okwewuunyisa nti mu CECAFA 5 ezisembyeyo, ewanguddeko 4! Kino kikulaga amaanyi ga Uganda mu kitundu kino.

Uganda era erina abazannyi abazannyiddeko ttiimu endala mu kitundu kino; Dan Sserunkuma y'abadde omuzira wa Gor Mahia ng'ewangula liigi y'omwaka guno n'okubayamba okutuuka ku fayinolo z'ekikopo kya Go TV Sheild omwaka guno. Hamis Kiiza yayamba Yanga okuwangula liigi omwaka oguwedde nga ne sizoni eno be bakyakulembedde liigi. Bano bw'obagattako kapiteeni wa Cranes, Emma Okwi eyali ow'omutawaana mu Simba eya Tanzania tolemwa kulowooza nti Uganda yeefuze ekitundu kino.

 

Obunafu bwabwe:

Cranes egenze okugenda mu CECAFA ng'omutendesi Micho Sredojevich tannamanya ttiimu ye ntuufu. Amaze ebbanga ng' akyusakyusa ttiimu mw'agezeresezza abazannyi abasukka mu 90,  kyokka era ne ku ssaawa esseembayo yatadde Geoffrey Kizito 'Baba' abadde amaze ebbanga nga tazannya, ku ttiimu. Baba si muzannyi mubi naye Micho bw'amukozesa ng'abadde tazannya n'aleka ababadde bazannya nga Oscar Agaba, akulowoozesa nti ali ku mupango gwa kumufunira ttiimu emugula.

Ekizibu kya Cranes ekirala kya butaba na mukulembeze. Okwi ye kapiteeni mu CECAFA naye obuvunaanyizibwa buyinza okumuzitoowerera singa weetegereza bulungi engeri gye yazannyeemu ku Rwanda. 

Mu CECAFA eziyise, Andy Mwesigwa abaddeko kapiteeni wa Cranes era omulimu guno abadde agukola bulungi nnyo, osanga Cranes ebadde yeetaaga omukulembeze amwefaananyiriza naddala mu ngeri gy'aduumiramu banne.

Cranes eyagala kikopo kya 14

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...