
Bya STEPHEN MAYAMBA
January 12 mu CHAN: Uganda - Burkina Faso
January 16: Uganda - Zimbabwe
January 20: Uganda - Morocco
KAPITEENI wa Cranes omujjuvu, Andy Mwesigwa, agambye nti Uganda ejja kukola bulungi mu mpaka za Afrika ez’abazannyira awaka (CHAN) e South Afrika singa abazannyi banaaba ffiiti (nga si bazito nnyo).
Mwesigwa, azannyira mu Ordabasy e Kazakhstan, eggulo yagenze e Namboole, Cranes gy’etendekerwa n’atenda nti, “Uganda tulina ebitone by’omupiira. Eno ttiimu nnungi nnyo singa abazannyi empaka zinaabasanga nga bali ffiiti.”
Empaka zitandika January 11 e South Afrika era nga Cranes eggulawo nkeera ne Burkina Faso.
Mwesigwa yagambye nti ku mulundi guno Cranes agisuubira okukola obulungi kubanga yayingidde mangu mu nkambi okusinga ku mpaka ezaali e Sudan mu 2011 bwe yagendamu ekikeerezi.
Yagambye nti Uganda ya maanyi nnyo mu Afrika era abazannyi bwe baneeyongera okwekkiririzaamu, Burkina Faso, Zimbabwe ne Morocco ze bali nazo mu kibinja.
Cranes yaakusitula nga January 9 ng’omutendesi Sredojevich Micho waakutwala abazannyi 23.
Cranes nnungi naye abazannyi bazito - Mwesigwa