TOP

Cranes eyazannye empaka za CHAN ekwatibwe bulungi

Added 26th January 2014

WADDE ng’omwaka 2014 twagutandise na kuwanduka mu mpaka za CHAN, nneebaza abazannyi n’okubazzaamu amaanyi nti kye baakoze kiwa essuubi.

 

 

 

 

 

 

 

WADDE ng’omwaka 2014 twagutandise na kuwanduka mu mpaka za CHAN, nneebaza abazannyi n’okubazzaamu amaanyi nti kye baakoze kiwa essuubi.

Sinnamanya kasiimo kaaweereddwa bazannyi bano nga kyandibadde kirungi basiimibwe nga bwe kizze kikolebwa emabega.
Kenya lwe yalemesa Cranes okuyitamu mu za Afrika, abazannyi twabawa obukadde 150 okubalaga nti tukyabeetaaga.

Ebiseera ebyo ensimbi kkampuni ya MTN ze yali etuwa zaali teziwera na kimu kyakubiri ku Cranes z’efuna kati mu kkampuni ya Airtel n’olwekyo omutemwa ogugenda mu basambi nagwo gulina okulinnya.

Okutuuka ku kino, abakulembeze baffe balina okussa abazannyi ku mwanjo okusinga okwerowoozaako bokka.

Tekyabadde kirungi kusitula bakungu ba FUFA abasoba mu 14 bonna ne bagenda e South Afrika kuba okwo kwonoona.

Ensimbi ezaasaanyibwa ku bakungu zandiyambye mu kulabirira abasambi kuba nkimanyi nti CAF yabadde ebawaako omuwendo ogwo gwokka ogukkirizibwa mu mateeka.

Naye wadde ebyo biri bityo, empaka zino zaayambye abazannyi okwongera okuguma. Mu bano mulimu omukwasi wa ggoolo Benjamin Ochan, Richard Kasagga, Savio Kabugo, Isaac Muleme, Denis Iguma ne Ivan Ntege.

Kye twetaaga okukola kwe kulaba nga bongerwa omukisa okugezesebwa nga bassibwa mu ttiimu enkulu.

Nawulidde oluvuuvuumo nti Pulezidenti Magogo ateekateeka kusuula abasambi abaazannya mu kampeyini y’empaka za Afrika ezaayita atandikewo ttiimu eyiye. Kino si kibi naye nsaba ayongere okukyetegereza nga tannakisa mu nkola.

Nakitegeddeko nga bwe waliwo ekibinja ekinoonya mu bakiise okuggya Magogo mu ntebe ya FUFA ng’era kigambibwa nti nze nkikulembeddemu. Njagala okutegeeza abasomi bange ne bannabyamizannyo nti enteekateeka ezo sizimanyiiko.

Wadde nava ku ky’obwogezi bwa FUFA, saagala kwenyigira mu ntalo kuba tezizimba mupiira. Singa nali njagala nnyo okulwana, nandibadde nsigalayo mu FUFA kuba ekyamazima Magogo yali tasobola kuvaamu kigambo nti ‘nkugobye’.

Abali ku mulimu guno mbasaba baleme kukozesa linnya lyange wabula bwe kiriba kyetaagisiza naddala nga Magogo alemeddwa okukyusa ku nsobi ze, nditegeeza eggwanga mu butongole ku ndowooza yange. Tusisinkane wiiki ejja.

rogersmulindwa43@gmail.com (0772 751 829)

Cranes eyazannye empaka za CHAN ekwatibwe bulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...