TOP

Abateebi ba SC Villa bazitowa nga ndoddo

Added 9th February 2014

EKITUNDU ya liigi ya FUFA ekyokubiri kyatandise okuzannyibwa ku Lwokutaano n’emipiira mukaaga. Liigi ebadde emaze emyezi ebiri ng’ewummudde olwa ttiimu y’eggwanga okuwetaba mu mpaka za CECAFA ne CHAN.



Bya HUSSEIN BUKENYA

Mu liigi ya FUFA:

SC Villa  1-1    SOANA
Vipers    1-0   Proline
URA FC   2-0   Masaka
Ntebe      1-1   BIDCO
CRO         0-0   Kira Young
Simba      0-0  Bright Stars

EKITUNDU ya liigi ya FUFA ekyokubiri kyatandise okuzannyibwa ku Lwokutaano n’emipiira mukaaga. Liigi ebadde emaze emyezi ebiri ng’ewummudde olwa ttiimu y’eggwanga okuwetaba mu mpaka za CECAFA ne CHAN.

Wabula, ttiimu eziwera zaagenze okukomawo ng’omutindo gw’abazannyi baazo guli wansi ddala nga kino kyeyolekedde mu kuvumbeerera mu kisaawe.

E Nakivubo, SC Villa yasiitaanye okuggya akabonero ku SOANA bwe yavudde emabega okuteeba ey’ekyankanyi.

Enzannya ya ttiimu zombi yalaze ng’abazannyi b’enjuyi zombi bwe bali abakoowu era abazannyi obwedde bazitowa nga ndoddo za miti.

Villa yafunye emikisa egiwera wabula olw’abazannyi obutaba ku ffoomu, kyabalemesezza okufuna ggoolo ey’obuwanguzi.

Francis Olaki ye yasoose okuteebera SOANA olwo Ronald Muganga n’ateeba ey’ekyenkanyi.

TTIIMU 2 ZE ZIWANGUDDE:

Ku mipiira omukaaga egyazannyiddwa, ebiri gyokka gye gyavuddeko omuwanguzi. Emipiira ena, gyaggweeredde mu maliri nga ebiri ku gyo, temwabadde ggoolo.

Kino nakyo kyayongedde okulaga ng’abazannyi bwe bakyali abukoowu era nga n’obuzibu bw’abateebi bwe bweyongedde mu mupiira gwa Uganda. Ggoolo musanvu zokka ze zaateebeddwa nga ttiimu ttaano tezaateebye ggoolo.

OWEN KASULE AZZEEMU OKWAKA:

E Lugazi, Owen Kasule yateebye ggoolo bbiri nga URA ewangula Masaka LC (2-0) n’awa abawagizi essuubi nti akomyewo ku mutindo gwe yaliko ng’akyali mu KCC.

OKHUTI AZADDE VIPERS:

E Kitende, bannyinimu aba Vipers baawangudde Proline (1-0) eyateebeddwa Ceasar Okhuti ne yeeyongera (Vipers) okwenywereza ku ntikko n’obubonero 32 ate URA eyookubiri erina 29.

Abateebi ba SC Villa bazitowa nga ndoddo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...