TOP

Owa Victoria University aleese Micho amutaase

Added 11th February 2014

OMUZUNGU Simo Dubajic, nnannyini Victoria University SC, agambye nti agenda kwogera n’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevich, amuyambe okutendeka ttiimu ye obukodyo obunaabayamba okuggya Don Bosco eya DR Congo mu mpaka z’Afrika.



Bya HUSSEIN BUKENYA

Lwamukaaga e Namboole:

KCC - El Merreikh (Sudan)

Ebisale: 10,000/-, 20,000/- ne 50,000/-

Ssande e Namboole:

Victoria - Don Bosco (DRC)

Ebisale: 5,000/- ne 10,000/-

OMUZUNGU Simo Dubajic, nnannyini Victoria University SC, agambye nti agenda kwogera n’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevich, amuyambe okutendeka ttiimu ye obukodyo obunaabayamba okuggya Don Bosco eya DR Congo mu mpaka z’Afrika.

Victoria yeetaaga obuwanguzi bwa ggoolo 4-0 oluvannyuma lwa Don Bosco okugiwuttula (3-0) mu gwasoose e Lubumbashi ku Lwomukaaga. Badding’ana ku Ssande e Namboole.

Wadde nga Victoria tennateeba ku ggoolo ssatu mu mupiira gwa liigi sizoni eno, Simo agamba nti Micho asobola okuyamba ku mutendesi Morley Byekwaso ne basigala mu mpaka za ‘CAF Confederation Cup’.

KCC FC EKOMYEWO

Abazannyi n’abakungu ba KCC baakomyewo eggulo okuva e Sudan gye baawangulidde El Merreikh ggoolo 2-0 mu mpaka za ‘CAF Champions League’.

MICHO AYOGEDDE:

Micho yagambye nti teyagenze Congo nga mutendesi wa Victoria wabula yawadde ku Morley (Byekwaso) omutendesi wa Victoria University amagezi kuba alina obumanyirivu ku ttiimu z’ebweru n’agattako nti tasobola kulaba Victoria oba KCC  nga zivuya nataziyamba kuba mulimu abazannyi ba Cranes baalina okugoberela.

ABATENDESI KYE BAGAMBA:

Matia Lule, (Entebbe FC); Micho okugenda ne Victoria n'agitendeka e Congo sikirabamu buzibu kuba mulimu abazannyi ba Cranes baalina okulaba engeri gye bakolamu mu mipiira eminene.

Paul Nkata,(URA):

Micho mutendesi wa ggwanga ng’okuyamba ku Victoria aba ayamba bazannyi ba Uganda kuba kibongera okufuna obumanyirivu okuva gy’ali, ne bwe mba nze mmuyita n’atuyamba.

Edward Golola,(Vipers):

Micho ekyo kyalina okukola kuba mutendesi wa ggwanga nga kimukakatako okuyamba walaba obuzibu nga kiyinza okuyamba omupiira gwaffe mu maaso. Mmusaba ne ttiimu endala aleme kuzirinda kugenda bweru wa ggwanga.

Wasswa Bossa,(Express):

Micho alina bingi byasobola okuyigiriza abazannyi baffe era Victoria erina bingi byemufunamu, bw’asalawo okugiyamba kiba kirungi.

GUMA BAMUSONYIYE:

Simo yagambye nti Denis Guma yasabye ekisonyiwo  namukkiriza okuddamu okuzannya n’agamba nti singa omutendesi anaalaba ng’ali ku mutindo waakumuzannyisa ku Ssande. Guma ne Savio Kabugo baafuumulwa ng’ebula wiiki emu ttiimu eno okukyalira Don Bosco, ng’omu-tendesi agamba nti baagaana okweyanjula mu nkambi mu budde.
 
KCC ETENDEKEBWA:

Omutendesi wa KCC, George Nsimbe olwatuuse e Kampala eggulo n’ategeeza nga bwatagenda kutuula era leero (Lwakubiri) batandikirawo okutendekebwa nga basuzibwa e Namboole.   

Owa Victoria University aleese Micho amutaase

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...