TOP

Sigenderera kulemesa KCC za Afrika - Micho

Added 27th February 2014

Omutendesi wa Cranes, Micho Sredejovich ategeezezza nga bw’atalina mpalana wadde okulemesa ttiimu ya KCC olw’okuyita abazannyi baayo bazannyire Cranes ogw’omukwano sso nga nabo balina omupiira ogwa kaasammeeme.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Lwakusatu (March 8) Zambia - Uganda (Lusaka)

Lwamukaaga mu za Afrika:

Nkana - KCC e Ndola

Omutendesi wa Cranes, Micho Sredejovich ategeezezza nga bw’atalina mpalana wadde okulemesa ttiimu ya KCC olw’okuyita abazannyi baayo bazannyire Cranes ogw’omukwano sso nga nabo balina omupiira ogwa kaasammeeme.

Omutendesi wa KCC, George Nsimbe yalaze obwennyamivu olwa Micho okuyita Brian Majwega, Ivan Ntege ne Tonny Odur mu gw’omukwano ne Zambia sso nga mu kaseera omupiira ogwo we gunaazannyibwa, KCC eyajja kuba yeetegekera gwa kudding’ana ne Nkana Red Devils mu za CAF Champions League.

Ku Lwomukaaga luno, KCC ne Nkana Red Devils lwe battunka mu gw’oluzannya olusooka badding’ane wiike ejja.

Mu lukiiko lw’abaamawulire olwatudde ku kitebe kya FUFA e Mengo eggulo, Micho yagambye nti abazannyi bonna be yayise balina ttiimu mwe bazannyira era nga balina emipiira eminene.

“Dan Sserunkuuma, Godfrey Walusimbi ne Geoffrey 'Baba' Kizito aba Gor Mahia (Kenya), Emma Okwi ne Hamis Kizza aba Yanga (Tanzania) bonna bakyali mu mpaka KCC nayo z’erimu. Singa nabadde mpalana KCC yokka, abazannyi ba ttiimu endala bo nandibatalizza,” Micho bw’agamba.

Sigenderera kulemesa KCC za Afrika - Micho

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....