TOP

KCCA yeesize Odur okumegga Nkana

Added 1st March 2014

KCC FC, ekiikiridde Uganda mu mpaka za Orange CAF Champions League, leero (Lwamukaaga) eri mu nsiike ng’ettunka ne Nkana Red Devils eya Zambia mu nsiitaano esuubirwa okubaako n’obugombe.



Bya David W Kibanga
KCC FC, ekiikiridde Uganda mu mpaka za Orange CAF Champions League, leero (Lwamukaaga) eri mu nsiike ng’ettunka ne Nkana Red Devils eya Zambia mu nsiitaano esuubirwa okubaako n’obugombe.

Battunkira mu kibuga Kitwe, KCC gy’efunidde obweyamo bw’abawagizi ba Power Dyanamo, abatalima kambugu na Nkana mu liigi ya Zambia, okugiwagira.

KCC eyagala kuddamu kye yakolera e Sudan bwe yalumba El Merreikh omwayo n’egikubirayo ggoolo 2-0.

Omutendesi wa KCC, George ‘Best’ Nsimbe mugumu nti asobola okufuna obuwanguzi wadde nga bali ku bugenyi ate nga ne ttiimu gye bazannya nnungi nnyo awaka.

“Ekirungi abazannyi bange bonna weebali era nkakasa tujja kusobola okufuna obuwanguzi mu ngeri yonna kubanga tubwetaaga.” Nsimbe bw’agamba.

NSIMBE YEESIZE ODUR:
KCC, amaanyi gagiri mu muteebi Tony Odur, eyateeba ggoolo ebbiri mu nfunda ebbiri ze baawanduliddeko Merreikh ku mugatte gwa ggoolo (3-2).

Ku mipiira gya liigi 15 gyebazannya awaka sizoni ewedde, baakubwamu omupiira gumu gwokka ne bagwa amaliri emirundi 3, egisigadde 11, bagigoba. Ne mu kuyitawo okugenda ku luzannya luno mu CAF Champions league, Mbabane Swallows yasooka n’ebakuba ku ggoolo 2-0 kyokka bwe baddingana e Kitwe, Nkana yakuba Mbabane Swallows ku ggoolo 5-2. Amaanyi gaabwe awaka gasinga kwesigama ku bawagizi abayitirivu abettanira ennyo emipiira gyabwe era nga buli lwe bazannya kumpi ekisaawe kijjula.
Nkana bwezze ekola mu mpaka zino
Wadde nga tebawangulanga ku kikopo kino, Nkana FC yali etuuseko ku fayinolo (1990) ate nga ezannye ku semi emirundi 4 (1983, 1986, 1989 ne 1991) kuno kwosa ne ‘quarter’ emirundi 3 (1984, 1992 ne 1993).
KCC yeesize Odur
Omutindo omuteebi wa KCC Tony Odur gw’aliko ennaku zino guwaliriza n’omutendesi wa Cranes okuddamu okumuyita ku ttiimu ye ggwanga. Odur ye muzannyi asinga ggoolo mu liigi sizoni eno (12) kyokka nga bw’otunulira emipiira 10 gy’asembyeyo okuzannya wonna, Odur ateebyemu ggoolo 8. Yakuba ggoolo 4 mu Mapinduzi, n’akuba El Merriekh ggoolo 2, CRO ggoolo 2 ne Kamwokya United mw’atateeba. KCC bw’eba yakuyitamu, yakwesigama nnyo ku mutindo gwa Odur alabika nga azizza ekitone kye engulu.
singa KCC eyitawo, yakusisinkana an’ayitawo wakati wa Kabuscorp eya Angola ne Zamalek eya Misiri.
Nkana yatulugunyako KCC
Mu 1990, KCC yakubwa Nkana ku mugate gwa ggoolo 6-0. Baasoka ne bagikuba 4-0 e Kitwe olwo bwe baddingana, Nkana n’ebongera 2-0 e Nakivubo.


Emipiira 15 egya liigi Nkana gy'ezannyidde awaka sizoni ewedde, ekub¬waamu gumu, n'egwa amaliri 3, egisigadde 11 n'egigoba.
Okuyitawo okugenda ku luzannya luno, mu CAF Champions League, Mbabane Swallows yasooka n'ebakuba ggoolo 2-0 kyokka bwe badding'ana e Kitwe, Nkana yawuttula Mbabane Swallows ggoolo 5-2. Amaanyi ga Nka-na awaka gasinga kwesigama ku bawagizi abangi abettanira ennyo emipiira gyabwe era nga buli lwe bazannya kumpi ekisaawe kibooga.
Wadde nga tewangulanga ku kikopo kino, Nkana FC yatuukako ku fayinolo (1990) n'okukubirwa ku semi emi-rundi 4 (1983, 1986, 1989 ne 1991) ne 'quarter' emirundi 3 (1984, 1992 ne 1993).
YAKUBA KCC MU 1992;
Mu mpaka ze zimu eza 1992, Nkana yajooga KCC bwe yagikuba eka ne mu kibira. Baasooka Nakivubo, Nkana n'ewuttula 4-0 ate bwe badding'ana e Kitwe n'eyongera okuwangula 2-0.
NSIMBE TATIDDE
Wabula omutendesi wa KCC, George Nsimbe, eyali mu ttiimu eno ng'ekubwa Nkana mu 1992, agamba nti tagenda kuzibira. Yagambye nti abazannyi be abakuutidde okuteebayo ggoolo kuba bwe batateeba biba bibi mu luzan¬nya lw'okudding'ana.

KCCA yeesize Odur okumegga Nkana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...