TOP

Express ne Vipers ziri butoola e Buikwe

Added 14th March 2014

EMIPIIRA 6 egya liigi ya FUFA leero (Lwakutaano) gigenda kuyindira ku bisaawe ebyenjawulo mu ggwanga kyokka ng’ogusinze okwesungibwa guli Buikwe mu Kyaggwe.Bya HUSSEIN BUKENYA

Leero (Lwakutaano) mu liigi:

Vipers - Express FC, Kitende

Police - Proline, Kavumba

Kira - Bright Stars,  Nambole

Simba - URA FC, Bombo

SC Villa - BIDCO, Nakivubo

CRO FC - Masaka LC, Mbale

Lwakutaano mu Uganda Cup:

KCC - Friends of Soccer, Lugogo

EMIPIIRA 6 egya liigi ya FUFA leero (Lwakutaano) gigenda kuyindira ku bisaawe ebyenjawulo mu ggwanga kyokka ng’ogusinze okwesungibwa guli Buikwe mu Kyaggwe.

Vipers, ekulembedde liigi, ne Express, esinga obukadde mu ggwanga era emu ku zisinza abawagizi, basisinkanye e Buikwe nga buli emu erina ebigendererwa bya njawulo.

Express, okusigala mu liigi, erina okuwangula emipiira egiwera ng’etandikira ku guno, sso nga Vipers, okusigala ku ntikko, nayo erina kufuna buwanguzi.

Mu ngeri endala, omupiira guno gwe gugenda okusooka mu kisaawe ky’e Buikwe okuva FUFA bwe yakiggyeeko envumbo olw’effujjo ly’abawagizi eryakigazza omwaka oguwedde. Vipers eyagala kuwa Bannakyaggwe ssanyu ng’ekuba Express ey’e Kampala, sso nga ne Express eyagala kulaga nti yo ‘sseggwanga’ etemanyiirwa ‘bukoko’ bwa mu kyalo.

Bukya luzannya lwakubiri lutandika, Vipers yaakawangula Simba yokka (1-0) sso nga ne Express bukya Wasswa Bbosa asikira Frank ‘Video’ Anyau ku butendesi, yaakawangulwa Kira Young yokka (1-0). Buli emu enoonya buwanguzi bwakubiri mu luzannya olwokubiri.

Mu lwasooka e Wankulukuku, baagwa maliri (0-0) wabula Bbosa agamba nti ttiimu ye njawufu ku ya Anyau.
eyazannya ogusooka era nti  obubonero obutaasa ttiimu ye alina kubufuna ku buli mupiira gwazannya okuwonya ttiimu ye okuzannyira Big League sizoni ejja .

SC Villa ettunka ne BIDCO e Nakivubo

Akabonero kamu akawula Villa eri mukyo munaana ne BIDCO muky’okuna kekagenda okuttunsa abazannyi ba ttiimu zombi.

Villa erina 33 ate BIDCO erina 34 nga singa Villa ekomyawo omutindo gweyaliko ku Proline ne Seeta yalisula mukyokusatu singa Kira Young ne URA ziremwa okuwangula

Express ne Vipers ziri butoola e Buikwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...

Wetaka

Munna FDC ayagala poliisi e...

MUNNA FDC avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Bubulo East, Chris Matembu Wetaka alaajanidde poliisi okumuddiza...

Salvado ne kabiite we nga basolooza ebirabo mu Klezia.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Omuzannyi wa komedi, Patrick Idringi okuva mu bitundu by'e Ombokolo amanyiddwa nga Salvado ku siteegi akubye mukyala...

Mayambala ng’ayogera mu lukuηηaana lw’abaliko obulemu.

Mayambala yeeyamye okusooso...

WILLIAM Mayambala omu ku bavuganya ku ntebe y'obwapulezidenti ategeezezza nti ye yekka alina entegeka ennuηηamu...