TOP

Omuwagizi afiiridde mu mmotoka z'empaka e Jinja

Added 24th March 2014

Herbert Ssekirime, omuwagizi wa mmotoka z’empaka, yakedde ku makya n’ayolekera e Jinja okuwagira mmotoka z’empaka nga tamanyi nti gy’agenda okussiza omukka ogw’enkomerero.



Bya Steven  Musoke ne Tonny Nsoona

Abawanguzi b’empaka:

1. Jonas Kansiime              1:45:20
2. Ronald Ssebuguzi         1:46:27
3. Wilber Pole Pole            1:56:50
4. Leila Blick                         1:57:07
5. Dr. Ashiraf                         1:57:07


Herbert Ssekirime, omuwagizi wa mmotoka z’empaka, yakedde ku makya n’ayolekera e Jinja okuwagira mmotoka z’empaka nga tamanyi nti gy’agenda okussiza omukka ogw’enkomerero.
 

Ssekirime yatomeddwa emu ku mmotoka z’abawagizi, eyawabye n’eva ku luguudo n’emusangiriza ebbali gye yabadde akubira enduulu n’okuwagira, n’amusaabala.

Ku makya eggulo, yakedde kukunga egimu ku mikwano gye ne boolekera Jinja awabadde empaka zino ezaatuumiddwa Source of the Nile Rally era banne abatonotono abaamwegasseeko byabaweddeko nga balaba munnaabwe eyazze yeetambuza ate nga musanyufu abafaako nga balaba.

Ssekirime eyafudde.

Ssekirime mutabani w’omugenzi Kezaala Ssekkuuma e Namugongo ku kyalo Lukadde. Eggulo, omulambo gwe gwatwaliddwa ku biggya bya bajjajjaabe ew’omugenzi Eriyasaafu Ndiwulira e Mbalwa gye bagenda okumuziika olwaleero.

Omu ku beng’anda z’omugenzi ayitibwa Reymond Asaf Kiggwe, yagambye nti kkojjaawe ono yavudde mu maka ge agasangibwa e Namugongo ng’abasiibudde era n’abategeeza nti alumbye Jinja.

Kansiime alidde empaka:

Jonas Kansiime ne Joseph Bongole mu mu mmotoka yaabwe Subaru N10 baawangudde empaka zino bwe baavugidde essaawa 1:45:20.

Baddiriddwa Ronald Ssebuguzi ne Cedric Buzabo mu Mitsubishi Evo 9 nga bano baavugidde essaawa 1:46:27. Wilber Pole Pole yakutte kyakusatu.

Omuwagizi afiiridde mu mmotoka z’empaka e Jinja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...