TOP

Abaganda bakungiddwa okujjumbira emisinde gya Kabaka

Added 4th April 2014

NG’EBULA olunaku lumu lwokka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka giyinde, omuyimbi Ragga Dee akunze bayimbi banne n’Abaganda okugyetabamu nti lwe banaalaga nga bali naye (Kabaka) mu kulwanyisa ekirwadde ky’okutonnya mu bakazi (fistula).



Bya BASASI BA BUKEDDE
Ssande (April 6):
Emisinde gya Kabaka

NG’EBULA olunaku lumu lwokka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka giyinde, omuyimbi Ragga Dee akunze bayimbi banne n’Abaganda okugyetabamu nti lwe banaalaga nga bali naye (Kabaka) mu kulwanyisa ekirwadde ky’okutonnya mu bakazi (fistula).

Bino Ragga Dee yabyogedde eggulo bwe yazze ku ofiisi za Bukedde okwewandiisa okwetaba
mu misinde gino n’agula ne tikiti za mitwalo 20 ziweebwe abayimbi abatanneewandiisa.

Emisinde gino egikuza amazaalibwa ga Kabaka aga 59, giyinda ku Ssande nga gyawuddwaamu
ebiti bisatu; egya kiromita 5, 10 ne 21.

Gisuubirwa okusimbulwa Kabaka ku Lubiri e Mmengo. Ku Lwokusatu, kkampuni ya Mukwano yawagidde emisinde gino ne tikiti za 1,000,000/- ssaako ebizigo ne ssabbuuni.

Kitunziwaayo, Nicol Brown ye yazikwasizza  minisita w’Emizannyo e Mmengo, Henry Ssekabembe.
Eggulo (Lwakuna), abakungu ba Buganda Land Board, Priscilla Kalibbala Kyotera ne Abbey Ntambi
baaguze tikiti za mitwalo 56 ate omubaka wa Kyotera mu Palamenti, Haruna Kasolo yaguze
za mitwalo 20.

Abaganda bakungiddwa okujjumbira emisinde gya Kabaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Ababaka abayise mu ttanuulu

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga....