TOP

Uganda ewera kukeesa Bannakenya ddigi

Added 20th April 2014

TTIIMU ya Uganda eya ddigi leero (Ssande) lw’ekakasa Bannayuganda nti okuwera kw’ezze ekola nti yaakukeesa Bannakenya ddigi, tekuli mu bigambo bugambo.



Bya N. KALYANGO

Ssande e Busiika:

FIM Africa Motorcross

TTIIMU ya Uganda eya ddigi leero (Ssande) lw’ekakasa Bannayuganda nti okuwera kw’ezze ekola nti yaakukeesa Bannakenya ddigi, tekuli mu bigambo bugambo.

Uganda, Kenya ne Tanzania leero lwe zisindana e Busiiika okumpi ne Gayaza mu disitulikiti y’e Wakiso, mu mpaka z’engule yasinga okubonga  ddigi mu buvanjuba n’amasekkati ga Afrika ezitandika n’oluvuga olusooka.

Uganda emaze ennaku nnya ng’etendekebwa Maxime Van Pee (omu ku bali mu ttiimu ya Uganda) ku bukodyo bw’okubonga ddigi mu buseerezi ne ku nguudo z’omusenyu.

Omu ku bamusaayimuto Uganda b’esinze okutunuulira, Imran Balinda Nkuruziza (7),  yategeezezza nga nti agenda kulaga abantu ekitone eky’enjawulo wadde ng’omukono gwe gulimu obukosefu. 

“obuvune bunno gugenda kubeera mulundi gwa kubiri nga nvuga nabwo wabula nga tebusobola kunemesa kuwangula mpaka zino kubanga ne Garuga wenawangulira banange nail nabwo omwenzi oguwedde.” Imran yeyategezeza mu bumalirivu obungi.

Arthur Blick omudumizi wa ttiimu ya Uganda yategezeza nga amannyi gabwe okusinga wegali mu daala ly’abaana abato (Mx65 ne 85) mpozi ne mu bakulu (Mx1) webayina abavuzi abamalirivu ate abebitone ebirungi abasubirwa  okubeera basaale nyo singa Uganda ebeera ya  kutwala ngule eno gyeyasembayo okutwala mu 2012.

Samir Anwar ne Elias Sherman be bannakenya abasooka okujja mu ggwanga ku sande eranga babadde batendekebwa e Busiika  wabula kati nga ne banabwe bonna 24 bamaze dda okuyingirawo mu ggwanga okulaba nga balwanira ng’engule eno gyebatwala omwaka oguwedde obutabavako. Josh Hamilton ye mutanzania yekka eyewandisiza mu mpaka zino wabula ng’amawanga amalala agali gasubirwa mu mpaka zino tegalese bavuzi. 

Empaka zino eza tegekeddwa kiraabu ya Speed Way, zitambulira ku mutendera gwa lawundi ssatu (3) ez’okuvugibwa ku nnaku z’omwenzi  ez’enjawulo,ng’olunava e Busiika ezidaako za kubeera Garuga olwo basembyeyo e Busiika.

Uganda ewera kukeesa Bannakenya ddigi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...