TOP

Eky'Amasaza tugenda kukyeddiza-Mawokota

Added 22nd April 2014

KAWUMBA ewangudde empaka za Lubyayi kaapu bannamawota nebalangireira tiimu kabiriiti egenda okuddiza engabo ya Masaza Kaapu.Bya PADDY BUKENYA MPIGI

KAWUMBA ewangudde empaka za Lubyayi kaapu bannamawota nebalangireira tiimu kabiriiti egenda okuddiza engabo ya Masaza Kaapu.

Kawumba FC ewangudde eza Lubyayi kaapu neesitukira mu sseddume we nte wa bukadde bubiri ne kikopo bwekubye Nabusanke fc goolo 2-0 mu kisaawe mu nnamungi wo muntu kyokka nabo nebabuukayo ne mitwalo gye nsimbi ataano (500,000/-).

Lubyayi yeebazizza tiimu zonna 21 ezetabye mu mpaka era nga zaava ku mutendera gwa magombolola nebasunsulamu okutuuka ku mutendera gwa konsitiwensi.

Lubyayi agambye nti ekikopo kino kibayambye nnyo okufuna tiimu ya Mawokota kabiriiti egenda okutigomya zinaazo mu mpaka za masaza era naalangirira nti abazannyi abasoba mu kkumi bamaze okusunsulwa era nti ekikopo baakukyeddiza.

Bakansala ba disitulikiti Benon Nsamba ne Manisuuli Kiyemba basiimye nnyo Lubyayi okwetaba mu kutumbula ebyemizannyo mu Mawokota nokugikuumira ku ntikko wabula ssentebe we gombolola naasima enteekateeka ze kikopo kino ennambulukufu era naayozaayoza tiimu ye eya Kawumba okutuuka ku buwanguzi.

 

Eky’Amasaza tugenda kukyeddiza-Mawokota

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...