TOP

URA eremesezza KCCA

Added 30th April 2014

OKWESOGGA ekisaawe ky’e Lugogo eggulo, KCCA ne URA zaakiyingidde buli emu ebala buwanguzi bwokka.Egyazannyiddwa mu liigi:

KCCA   1-1 URA

Police    2-3 Victoria Uni.

CRO       0-2 SC Villa

Express 1-0 Masaka

Bright Stars 1-1 Entebbe

Kira Young 0-1 Simba 

OKWESOGGA ekisaawe ky’e Lugogo eggulo, KCCA ne URA zaakiyingidde buli emu ebala buwanguzi bwokka.

URA ng’eri wansi w’omutendesi Paul Nkata, yabadde eyagala kwesasuza KCCA eyagiwangula mu luzannya olwasooka (3-2) ate nga ne KCCA yeesunga buwanguzi eyerule ekkubo lyayo ery’okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Ebiruubirirwa bya ttiimu zino zombi zaalemeddwa okubituukako bwe zaagudde amaliri (1-1). Ggoolo ya KCCA yateebeddwa Herman Wasswa mu ddakiika ey’e 41 ate Emma Ngoma n’ateeba eya URA. Mu mipiira 27 gye yaakazannya, KCCA ekyali ku ntikko ya liigi n’obubonero 53.  

E Kavumba, Victoria University yavuddeyo na buwanguzi bwe yamezze Police ku ggoolo 3-2. Kati mu mipiira 28 Victoria University gye yaakazannya, erinamu obubonero 53 nga buno ebwenkanya ne KCCA ekulembedde wabula nga KCCA eri ku mipiira 27 gye yaakazannya.

E Mbale, SC Villa yaggyeeyo buwanguzi ku CRO.

URA eremesezza KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wetaka

Munna FDC ayagala poliisi e...

MUNNA FDC avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Bubulo East, Chris Matembu Wetaka alaajanidde poliisi okumuddiza...

Salvado ne kabiite we nga basolooza ebirabo mu Klezia.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Omuzannyi wa komedi, Patrick Idringi okuva mu bitundu by'e Ombokolo amanyiddwa nga Salvado ku siteegi akubye mukyala...

Mayambala ng’ayogera mu lukuηηaana lw’abaliko obulemu.

Mayambala yeeyamye okusooso...

WILLIAM Mayambala omu ku bavuganya ku ntebe y'obwapulezidenti ategeezezza nti ye yekka alina entegeka ennuηηamu...

Ekipande Stecia kye yakoze.

'Stecia naye ayingidde mu s...

Abasajja ennaku zino baafuuka ba bbula. N'abawala bavudde ku nnono n'okulinda abasajja okubakwana n'okusooka okukyala...

Minisita Kiwanda nga yeetegereza Tiger ezaaleteddwa.

Minisita Kiwanda asabye aba...

Minisita w'ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi asabye abavubuka, abakuumaddembe n'abeesimbyewo okwogera n'okukola...