TOP

Cranes eyingidde enkambi okwetegekera Madagascar

Added 22nd May 2014

TTIIMU ya Cranes ezzeemu okutendekebwa e Namboole okwetegekera omupiira gw'okudding'ana ne Madagascar mu luzannya olusooka abalizannya eza Afrika omwaka ogujja.



BYA SILVANO KIBUUKA

MAY 31 mu za Afrika:

Cranes - Madagascar (Namboole)

Ebisale by'olukalaba omupiira

12,000/-, 50,000/- ne 20,000/-

TTIIMU ya Cranes ezzeemu okutendekebwa e Namboole okwetegekera omupiira gw'okudding'ana ne Madagascar mu luzannya olusooka abalizannya eza Afrika omwaka ogujja.

Masa ataabadde Antananarivo mu Madagascar ng’ewangulwa ggoolo 2-1 mu luzannya olwasoose, yeegasse ku nkambi

Wabula omutendesi Sredejovic Micho yasoose kwetondera ggwanga mu lukung’ana lwa bannamawulire ku FUFA House ku Lwokusatu ku makya n’agamba nti nabo (abatendesi ne ttiimu yonna) tebanneetegeera lwaki baazannye bubi.

Wabula agambye nti okubulawo kw’abakwasi ba ggoolo, Robert Odongokara ne Denis Onyango ekyabatuusa okuwa omwana omuto Ismail Watenga kye kimu ku byakubizza Cranes.

Abazannyi ba Cranes nga bali mu kutendekebwa e Namboole. EKIF SILVANO KIBUUKA

Kuno yayongeddeko ekisaawe eky’omuddo wamu n’ebbugumu eryasukkiridde.

Micho era akakasizza nti Godfrey Walusimbi tajja kusamba mupiira guno kubanga ekkoligo lya CAF erya kkaadi emmyufu gye yafuna nga Cranes esamba Senegal omwaka oguwedde waakusubwa emipiira ebiri okusinziira ku bbaluwa FUFA gye yafunye okuva mu CAF.

“Twabadde tuyise Walusimbi naye CAF n’etutegeeza nti baasalawo asibwe emipiira ebiri. Tujja kweyambisa abawagizi babeere omuzannyi owe 12 tusobole okumegga Madagascar e Namboole nga May 31 twesogge oluzannya oluddako,” Micho bwe yasuubizza Bannayuganda.

Abasambi abalala abasuubirwa okwegatta ku ttiimu ye Tony Mawejje ne Denis Onyango.

Cranes eyingidde enkambi okwetegekera Madagascar

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...