TOP

Ssingo yeesasuzza Buweekula mu gy'amasaza ga Buganda

Added 15th June 2014

Bannassingo baasuze babinuka ku Lwomukaaga bwe baawangulidde Buweekula omwayo nga bagikubye ggoolo 1-0 mu zagguddewo emipiira gy’amasaza egya 2014. BYA SILVANO KIBUUKA          15/6/2014     SSINGO YEESASUZZA BUWEEKULA MU GY’AMASAZA

Ebyavudde mu kuggulawo eg’amasaza:

Buweekula 0 Ssingo 1 - Lwamukaaga


Bannassingo baasuze babinuka ku Lwomukaaga bwe baawangulidde Buweekula omwayo nga bagikubye ggoolo 1-0 mu zagguddewo emipiira gy’amasaza egya 2014.

 

Omupiira guno gwasambiddwa ku kisaawe kya St. Peters Technical Insititute e Mubende nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ye yasoose okusamba omupiira ng’ababonero akalaga okuguggulawo.

 

Mu mpaka zino eza buli mwaka ezitaosola mu mawanga, James Amando, ye yateebedde Ssingo ggoolo eyagituusizza ku buwanguzi bwe yazzizzaako omupiira ogwamusaliziddwa Manunu Fetib mu ddakiika eya 45 Bannasingo ne bawaga.

 

“Baatuswaliza mu maaso ga Kabaka mu 2012. Naffe twesasuzza era ffena tuli mu masanyu,” Omuwanguzi wa Ssingo, Ibrahim Sekyanzi, bwe yategeezezza era nga bye bigambo bakira ebyogerwa kumpi buli Munnassingo.

 

 Omutendesi wa Ssingo, Richard Makumbi yategeezezza nti yabadde akisuubira okuwangula.

 

“Abasambi bange mbeesiga era pulaani yaffe kutwala kikopo ekyatulemera ku fayinolo y'omwaka oguwedde bwe twawangulwa Mawokota ggoolo 1-0 e Nakivubo. Nsaba abawaguzi bongere okubeera ku ttiimu mu buli kimu,” Makumbi bwe yategeezezza.

 

“ Katonda atukwatidde ku ntegeka zaffe era atukubye enkata okwesasuza Buweekula eyatuswaliza omwaffe mu 2012.

 

Ye minisita w’eggwanga ow’emizannyo n'abavubuka mu gavumenti ya Buganda, Henry Sekabembe, yasabye abategesi okubeera abalambulukufu n’obutakozesa bubi ssente ezaasoloozeddwa ku bantu abasoba mu 15,000 abaalabye omupiira guno.

 

Tikiti zaabadde ku 10,000/= ne 30,000/= aw’ekikungu.

 

Nga tannaguulawo mupiira guno, Kabaka yasuze mu Buweekula okulambula abaami n’abantu be mu bifo ebitali bimu.

 

Wabula abantu babiri baagudde ku bakenje be nga bajaganya okwaniriza Kabaka mu Buweekula ku Lwokutaano ate mmotoka ezaabadde ziva e Buweekula ne zitomera abantu e Naama okumpi ne Mityana nga Bannasingo bajaganya olw'obuwanguzi.

 

 

Ssingo yeesasuza Buweekula mu gy''amasaza ga Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...