TOP

Micho asudde Mutumba lwa mutindo gwa kibogwe

Added 9th July 2014

OLWALEERO omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevich lw'asuubirwa okulangirira ttiimu egenda okuzannya Mauritania, kyokka nga kyategeezeddwa nti asudde Martin Kayongo Mutumba.



Bya DAVID KIBANGA

Lwakutaano mu gw'omukwano:

Uganda - Seychelles, Lugogo

July 19 e Namboole:

Uganda - Mauritania

OLWALEERO omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevich lw'asuubirwa okulangirira ttiimu egenda okuzannya Mauritania, kyokka nga kyategeezeddwa nti asudde Martin Kayongo Mutumba. 

Ensonda ezeesigika zaakakasizza nga Mutumba bw'atali mu pulaani za Micho mu mupiira guno. 

Omupiira gwa Cranes ogusembyeyo (Madagascar) Mutumba teyaguzannya oluvannyuma lw'okufuna obuvune mu kisambi kyokka era emikisa egigutandika gy'ali mitono olwa Kizito Luwagga okumusinga omutindo mu kutendekebwa.

 Mutumba azannyira mu Caykur Rizespor (Turkey), kyokka okuva lwe yava mu AIK Stolkholm eya Sweden, omutindo gwe gwakka olw'obutaba na nnamba etandika mu Turkey.

Mu ngeri y’emu, Micho asuubirwa okusuula abamu ku bazannyi b’asambisizza egy'omukwano e Mbarara ne Soroti,  ayongeremu bapulofeesono abalala. Abadde n’abazannyi 24.

Mu kaseera kano Cranes eri mu kutendekebwa okwa kaasammeeme e Namboole okulaba ng’eyongera okwenyweza era yayingidde n’enkambi.  Cranes esuubirwa okuzannya emipiira egy'omukwano ebiri nga tenattunka ne Mauritania okuli ogwa Seycheles (Lwakutaano) ne Malawi (ku Mmande). 

Micho asudde Mutumba lwa mutindo gwa kibogwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...