TOP

Germany etutte World Cup n''emenya likodi

Added 14th July 2014

EMYAKA 24 Girimaani gy’ebadde emaze nga tewangula World Cup, yagyerabidde eggulo bwe yamezze Argentina 1-0 ku fayinolo n’ewangula World Cup eyookuna.



 Fayinolo ya World Cup:

Girimaani 1-0 Argentina

EMYAKA 24 Girimaani gy’ebadde emaze nga tewangula World Cup, yagyerabidde eggulo bwe yamezze Argentina 1-0 ku fayinolo n’ewangula World Cup eyookuna.

Ebyafaayo byazzeemu ne biddiring’ana kuba ne ku fayinolo ya 1990 e Yitale, Girimaani yawangula Argentina ggoolo 1-0 n’esitukira mu kikopo kye kimu.

 

Mario Gotze eyayingiziddwa mu kifo kya Miroslav Klose, ye yawadde Girimaani essanyu ly’ekikopo bwe yazzizzaako paasi eyamuweerezeddwa Andre Schurrle mu ddakiika y’e 113 mu 30 ezaayongeddwaamu.

Girimaani emenye likodi 

Ly’eggwanga lya Bulaaya erisoose okuwangula World Cup ng’etegekeddwa ku ssemazinga wa Amerika. Girimaani ebadde emaze World Cup ssatu eziddirinwa nga waakiri etuuka ku semi.

Mu 2002, Brazil yagikubira ku fayinolo, mu ya 2006,Yitale n’ekigubira ku semi sso nga mu 2010, Spain ye yagikuba ku luzannya lwe lumu.

Girimaani yayongedde okulaga nti mu kaco kano y’eri ku ntikko y’omupiira oluvannyuma lw’okumegga bakirimaanyi basatu mu mpaka zino. Portugal, Brazil abategesi ne Argentina.

Neuer alidde ekya ggoolokipa:

Omukwasi wa ggoolo ya Girimaani, Manuel Neuer, yawangudde eky’omukwasi wa ggoolo asinze mu mpaka zino sso nga James Rodriguez owa Colombia ye yawangudde eky’obuteebi ne ggoolo mukaaga sso nga Paul Pogba owa Bufalansa yawangudde eky’omuzannyi omuto. 

Argentina eyaduumiddwa Lionel Messi yasubiddwa omukisa okuwangula World Cup yaayo eyookusatu nga yasemba okukiwangula mu 1986 bwe yakuba Girimaani yennyini ggoolo 3-2.

Argentina terina bateebi: 

Wabula yaakwevuma abateebi baayo Gonzalo Higuain ne Rodrigo Palacio abaalemeddwa emikisa egyabadde giweddeko amazzi.

Mu ngeri y’emu Messi eyalondeddwa ku ky’obuzannyi bw’empaka zino, yasubiddwa omukisa okuggya munnansi Diego Maradona ku ntikko y’abakyasinze okucanga akapiira olw’okulemwa okuwangula World Cup.

Abazannyi ba Girimaani baayiiseemu kavu wa mitwalo gya Euro 300,000 buli omu mu za Uganda (akawumbi kamu n’obukadde 80).

Germany etutte World Cup n''emenya likodi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...