
Bya JAMES BAKAMA
GLASGOW,SCOTLAND
MUNNAYUGANDA omuggunzi w’ebikonde, Mike Sekabembe yeesozze semi mu mizannyo gya Commonwealth egiyindira mu kibuga Glasgow ekya Scotland.
Ono yaggunze Munnaghana, Osuman ebikonde ebyamuggye mu miguwa nga n’eryamutwala e Scotland tamanyi gye liri. Bano baabadde battunka mu buzito bwa ‘super heavy weight’ obwa kiro 91 ku ‘qaurter’.
Okwesogga semi mu mpaka z’ebikonde, kitegeeza nti Sekabembe yamaze dda okuwangulira Uganda omudaali omulala kuba abatuuka ku luzannya luno bonna bafuna emidaali newankubadde gyawukana okusinziira ku baba bayiseewo okuzannya fayinolo. Buli awangulwa ku semi, afuna omudaali gwa kikomo, akubirwa ku fayinolo (owookubiri) wa feeza ate akulembera wa zaabu. Ssekabembe adda mu miguwa ku Lwokutaano okulwana okwesogga fayinolo.
Munnayuganda Sekabembe kata attire Munnaghana mu miguwa