TOP

Cranes erumbye Mauritania ng'erimu ebituli

Added 2nd August 2014

WADDE Cranes tesuubirwa kubaamu bazannyi basatu abaatandika ku mupiira gwa Mauritania e Namboole, omutendesi Micho Sredojevic ategeezezza nga bw’atajja kukaabira mata gayiise.



Bya WILLIAMS DAVID KIBANGA
Enkya (Ssande) mu za Afrika:
Mauritania - Uganda
Ssaawa 2:00 (ekiro)


WADDE Cranes tesuubirwa kubaamu bazannyi basatu abaatandika ku mupiira gwa Mauritania e Namboole, omutendesi Micho Sredojevic ategeezezza nga bw’atajja kukaabira mata gayiise.

Amyuka kapiteeni wa Cranes, Denis Onyango (akwatira Mamelodi Sundowns e South Afrika), Moses Oloya (owa Sai Ghon e Vietnam) ne Geofrey Massa (Pretoria University ey’e South Afrika) tebaatambudde na ttiimu eyasitudde ku Lwokuna ekiro oluvannyuma lwa kiraabu zaabwe okubagaanira. Cranes yawangula ogwasooka bwe yakuba Mauritania (2-0) era Massa ye yateeba ggoolo eyookubiri.


"Bassita baffe basatu tetugenda kuba nabo wadde tukoze kyonna ekisoboka okulaba nga tubafuna. Tetuyinza kudda mu kwekubagiza nga tukaabira amata agaayise edda olw'okuba tetubalina. Tugenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga tuyitawo." Micho bwe yategeezezza nga ttiimu tennasitula kugenda Mauritania.


Nga ttiimu tennasitula, abatendesi baasoose kukaayana ku bazannyi be balina okutwala
nga Fred Kajoba (atendeka abakwasi ba ggoolo) ne Kefa Kisaala (amyuka Micho)
baagala kutwala Robert Ssentongo (muteebi) sso nga Micho ayagala Allan Kyambadde
(muwuwuttanyi). Gye byaggweeredde, nga Micho banne bamummezze nga Kyambadde
amusudde n’atwala Ssentongo.

Cranes yeetaaga kugwa maliri oba okukubwa ggoolo ezitakka mu emu okuyitawo okugenda mu kibinja ekirimu; Ghana, Togo ne Guinea.

ABAZANNYI ABAAGENZE:
Abakwasi ba ggoolo; Benjamin Ochan ne Robert Odongkara. Abazibizi: Denis Iguma, Godfrey Walusimbi, Savio Kabugo, Richard Kasagga, Andy Mwesigwa ne Isaac Isinde

Abawuwuttanyi: Luwagga Kizito, Geofrey Kizito 'Baba', Khalid Aucho, Farouq Miya,
Tonny Mawejje ne Brian Majwega,

Abateebi: Robert Ssentongo, Brian Umony, Daniel Sserunkuma ne Hamis Kiiza.

Cranes erumbye Mauritania ng’erimu ebituli

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...