TOP

Kipsiro aleese zaabu n'assaawo likodi

Added 3rd August 2014

MUNNAYUGANDA Moses Kipsiro, yamazeewo ejjoogo lya Bannakenya mu misinde emiwanvu mu mizannyo gya Commonwealth egiyindira e Glasgow ekya Scotland, bwe yawangudde egya mmita 10,000, n’asitukira mu mudaali ogwa zaabu.




Bya NORMAN KATENDE,
GLASGOW - SCOTLAND


Emidaali gya Uganda:
1. Kipsiro (zaabu, mmita 10,000)
2. Nanyondo (kikomo, mmita 800)
3. Kiplimo (kikomo, marathon)
4. Sekabembe (kikomo, bikonde)
5. Fazil Kaggwa (kikomo, bikonde)

MUNNAYUGANDA Moses Kipsiro, yamazeewo ejjoogo lya Bannakenya mu misinde emiwanvu mu mizannyo gya Commonwealth egiyindira e Glasgow ekya Scotland, bwe yawangudde egya mmita 10,000, n’asitukira mu mudaali ogwa zaabu.

Nanyondo ng'attunka n'abaddusi abalala.

Kipsiro yakoze ekyafaayo kubanga ye muddusi asoose okweddiza omudaali gwa zaabu mu misinde gino bukya mizannyo gino gitandika kuzannyibwa mu 1930.

Mmita 800:
1 Eunice Sam (KEN) 2:00.31
2 Lynsey Sharp (SCO) 2:01.34
3 Nanyondo (UGA) 2 : 01.38

WINNIE Nanyondo yawangudde omudaali gwe ogusooka ku mutindo gw'ensi yonna oluvannyuma lw'okumalira mu kifo ekyokubiri mu misinde gya mmita 800 (okwetooloola ekisaawe emirundi ebiri).

Nanyondo tekyamubeeredde kyangu okuwangula omudaali guno, olw'abaddusi banne okugezaako okumutega ng'adduka.

Nannyondo ng'ajaguza olw'obuwanguzi

Wano Munnakenya Eunize Sum eyawangudde embiro zino we yamuddidde mu maaso ate ye Lynsey Sharp owa Scotland ne Jessica Judd ne Jennifer Meadows aba Bungereza ne bamudda ebbali nga tasobola kuvaayo oba okwenyiga mu maaso.

Kyokka oluvannyuma yasobodde okuvaayo gye yabadde asindiikiriziddwa n'adda mu maaso n'akwata ekyokusatu.

Munnayuganda Ronald Musagala (ku kkono) yadduse fayinolo za mmita 1500. Wano yabadde attunka ku semi ezaamuyisizzaawo okutuuka ku fayinolo.

“Obuwanguzi buno bwe ndudde nga nsaba Mukama, guno omwaka gwange,” Nanyondo bwe yategeezezza oluvannyuma lw'okuwangula omudaali.

Ye omutendesi Benjamin Longiross yagambye, “Akyali mwana muto ate tanneetaba mu misinde mingi.

Nnina essuubi nti ajja kuwangula emidaali emirala mingi bw'anaagenda mu maaso ng'atendekebwa bulungi.

Kipsiro aleese zaabu n''assaawo likodi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...