TOP

Cranes emaliridde okuggyamu Mauritania

Added 3rd August 2014

NEWANKUBADDE Cranes ebulamu abazannyi basatu ku baagisambira ng’ewangula Mauritania (2-0) e Namboole, omutendesi Micho Sredojevic agumizza Bannayuganda nti ttiimu ye tegenda kukubwa mu mupiira ogw’okudding'ana.



Bya DAVID W. KIBANGA ne HUSSEIN BUKENYA

Ssande mu za Afrika:
Mauritania - Uganda, (ssaawa 2:00 ez’ekiro)

NEWANKUBADDE Cranes ebulamu abazannyi basatu ku baagisambira ng’ewangula Mauritania (2-0) e Namboole, omutendesi Micho Sredojevic agumizza Bannayuganda nti ttiimu ye tegenda kukubwa mu mupiira ogw’okudding'ana.

Leero (Ssande), Uganda (Cranes) edding’ana ne Mauritania mu kibuga Nouakchott nga bannyinimu beetaaga obuwanguzi bwa ggoolo 3-0 sso nga Cranes yeetaaga kulemagana okwesogga ebibinja omunaasusunsulirwa ttiimu eziryetaba mu mpaka za Afrika eziriyindira e Morocco omwaka ogujja.

Abazannyi basatu okuli; omukwasi wa ggoolo, Denis Onyango (Sundowns, South Afrika), Moses Oloya (Sai Gon, Vietnam) ne Geoffrey Massa (Pretoria University, South Afrika), kiraabu zaabwe zaabagaanidde nga zigamba nti zirina emipiira ku wiikendi ate ng’ogwa Mauritania teguli ku kalenda ya FIFA.

Wabula Micho agamba nti tagenda kukaabira mata gayiise kubanga alina abazannyi abasobola okujjuza ennamba zaabwe. Massa ye yateebera Cranes ggoolo eyookubiri.

“Massa, Onyango ne Oloya tetugenda kuba nabo wadde nga tukoze kyonna ekisoboka okulaba nga tubafuna. Tetuyinza kudda mu kwekubagiza kuba kifaananako okukaabira amata agayiise.”

Yagasseeko nti, “Tugenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga tuyitawo ate ekirungi tulina Mawejje ne Aucho abataazannya gw’e Namboole.”

Tony Mawejje yasubwa ogwasooka ng’amaliriza misoso gya ttiimu ye empya, Valur mu Iceland, ate Khalid Aucho (Tusker, Kenya) yali ku kkoligo lya kaadi. Robert Odongkara agenda kusikira Onyango.

Ayitawo leero wakati wa Cranes ne Mauritania, waakwesogga ekibinja omuli Ghana, Togo ne Guinea nga ttiimu ebbiri ezirikulembera ze ziriyitamu okuzannya ez’e Morocco.

SSENTONGO ASINGAKO
Micho asuubirwa okukola enkyukakyuka mu ttiimu nga kisuubirwa nti Cranes egenda kwettanira nnyo okuzibira okusinga okulumba.

Asuubirwa okuzannyisa omuteebi omu, apakire abazannyi bataano mu makkati okusiikiriza abazibizi abana ne Odongkara.

Ku kyoto, Ssentongo y’asuubirwa okuzannyayo yekka kubanga asinga ku Brian Umony okutawaanya abazibizi n’okulwanira omupiira sso nga Mawejje ne Aucho basuubirwa okusikira Miya Farouk ne Oloya.

Micho asuubirwa kutandisa; Odongkara, Denis Iguma, Jjajja Waalu, Isaac Isinde, Andy Mwesigwa, Baba Kizito, Diego Kiiza, Aucho, Mawejje, Ssentongo ne Brian Majwega

EY’ABATO EZZAAKO ZAMBIA
Emikisa gya Uganda okwetaba mu mpaka z’Afrika ez’abato gyeyongedde, ttiimu y’abali wansi w’emyaka 17 (The Cubs) bwe yakubye Rwanda (3-2) e Kigali ku Lwokutaano.

Uganda yayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 7-2 nga kati ezzaako Zambia, eyakubye Botswana (5-0) n’eyitiramu ku mugatte gwa ggoolo 6-0.

Cranes emaliridde okuggyamu Mauritania

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...