TOP

Bobby alidde ogw'okutendeka Kenya

Added 6th August 2014

EYALIKO omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson, agudde mu bintu, Kenya bw’emulonze ku butendesi bwa ttiimu y’eggwanga eya Harambee Stars.



 Bya HUSSEIN BUKENYA

EYALIKO omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson, agudde mu bintu,  Kenya bw’emulonze ku butendesi bwa ttiimu y’eggwanga eya Harambee Stars.

Kino kiddiridde ekibiina ekifuga omupiira mu Kenya (FKF) okugoba  abadde omutendesi, Adel Amrouche, enzaalwa y’e Belgium ng'entabwe eva ku Lesotho kubawandula mu z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja e Morocco.

Eggulo (Lwakubiri), Sam Nyamweya, akulira FKF yatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire mu wooteeri y’e Nairobi n’alangirira Bobby ku butendesi n’agattako nti amwagaza kumalawo jjoogo Uganda ly'etadde ku Kenya naddala mu mpaka za CECAFA. 

"Tuwadde Bobby omulimu guno kubanga omupiira gwa Afrika aguluddemu ekiraga nti agulinamu obumanyirivu era tumusuubira okukola ebiremye Adel," Namweya bwe yategeezezza, ku mukutu gwa Futaa okufulumira e Kenya.  

Bobby y’abadde omutendesi wa Gor Mahia eya Kenya, omuzannyira Bannayuganda Geoffrey ‘Baba’ Kizito, Godfrey Wallusimbi, Daniel ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma ne Arthur Semazzi era agiwangulidde ekikopo kya liigi sizoni ewedde.

 Omwaka oguwedde, yafuumulwa ku gw’obutendesi bwa Cranes gwe yali amazeeko emyaka 5.

Bobby alidde ogw''okutendeka Kenya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...