TOP

KCCA erwanira 'quarter' mu za CECAFA

Added 10th August 2014

OMUTINDO omuwuwuttanyi wa KCCA FC, Brian Majwega gwe yayolesezza mu mupiira ogwasoose, gutandise okutuuza abakungu ba kiraabu eziri mu mpaka za CECAFA ezibumbujjira e Rwanda obufoofoofo.



Bya H. BUKENYA, RWANDA

Leero mu CECAFA:

Telecom - KCCA, 7:00

KMKM - Azam, 9:00

Adam - Rayon Sport 11:00

Egyazannyiddwa:

KCCA 2-1 Gor Mahia

Rayon Sport 0-0 Azam 

Atlabara 1-1 KMKM

OMUTINDO omuwuwuttanyi wa KCCA FC, Brian Majwega gwe yayolesezza mu mupiira ogwasoose, gutandise okutuuza abakungu ba kiraabu eziri mu mpaka za CECAFA ezibumbujjira e Rwanda obufoofoofo.

Ku Lwokutaano, Majwega yayolesezza omutindo omusuffu bwe yeetisse KCCA ng’emegga bakyampiyoni ba Kenya mu liigi aba Gor Mahia (2-1) mu gumu ku gyagguddewo empaka za  CECAFA. 

Majwega, eyayingiziddwa mu kitundu ekyokubiri nga baggyeemu Steven Bengo, yateebeddewo ggoolo eyeekyenkanyi mu mupiira Gor Mahia gwe yasoose okukulembera ne ggoolo 1-0. 

Majwegwa teyakomye ku kuteeba ggoolo, kyokka era ye yakoledde ne Brian Umony ggoolo eyookubiri KCCA gye yafunye. 

“Nneetegekedde bulungi empaka zino era ndi mwetegefu okuyamba ttiimu yange okuddamu okuwangula ekikopo kino oluvannyuma lw’emyaka 36,” Majwega bwe yategeezezza ng’omupiira guwedde n’ayongerako nti, “Ndi fiiti era sirina muzibizi gwe ntya kwang’anga”.

Abakungu ba kiraabu okuli El Merrick, Gor Mahia, Azam, ne APR olwalabye ekitone kya mwanamulenzi, ne basitukiramu okugenda ku wooteeri ya Kigali View Hotel KCCA w’esula okwogerezeganyaamu n’abakungu bano ku by’okukansa omuzannyi ono. 

Leero (Ssande), KCCA ekomyewo mu nsiike ng’ettunka ne Telecom eya Djbouti nga singa eguwangula, ejja kuba yeesozze ‘quarter’ wadde ng’ekyabuzaayo emipiira ebiri okumalayo ez’ebibinja. 

 

KCCA erwanira ‘quarter’ mu za CECAFA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...