TOP

Namboole eraajanidde poliisi

Added 27th August 2014

Abakungu ba Namboole balaajanidde Polisi ebayambe okukwata be bayise abafere abagufudde omugano okukola ssente nga balimba abantu nti bakkiriziganyizza n’ekisaawe okubawa ettaka kwe bakolera.

Bya Norman Katende

Abakungu ba Namboole  balaajanidde Polisi ebayambe okukwata be bayise abafere abagufudde omugano okukola ssente nga balimba abantu nti bakkiriziganyizza n’ekisaawe okubawa ettaka kwe bakolera.

Kino kiddiridde ekibiina ky’abaazirwanako okusaba ssente mu basuubuzi abali ku Katale k’e Kireka nga bagamba nti waliwo endagaano gye baakoze n’abe kisaawe okubakkiriza okuteewo akatale, oluvannyuma lw’ekitongole ky’eggaali y’omukka okubagoba ku ttaka lyabwe.

Okusinziira ku ndagaano, abaazirwanako bagamba nti Namboole yabakkiriza okukolera ku ttaka lino okutuusa mu September wa 2015, era nga kitebeerezebwa nti abasuubuzi abasinga obungi baamaze dda okusasulira ebifo we banazza emidaala gyabwe.

Wabula akulira enzirukanya y’ekisaawe ky’e Namboole, Jamil Ssewanyana yagambye nti tebalina gwe baawa ttaka n’awanjagira poliisi ebayambe okukwata abantu bano. Namboole emaze emyaka 10 ng’erwana kuggya basenze ku ttaka lyayo.

Namboole eraajanidde poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...