TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • EMMA OKWI: Yanga y'e Tanzania emukubye mu mbuga lwa kugifera

EMMA OKWI: Yanga y'e Tanzania emukubye mu mbuga lwa kugifera

Added 7th September 2014

EGGULO (Lwamukaaga), Cranes yattunse ne Ghana mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Afrika omwaka ogujja, ng’omuteebi waayo Emma Okwi abbinkana n’omusango abakungu ba Yanga African gwe baamuwaabidde.

Bya HUSSEIN BUKENYA

EGGULO (Lwamukaaga), Cranes yattunse ne Ghana mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Afrika omwaka ogujja, ng’omuteebi waayo Emma Okwi abbinkana n’omusango abakungu ba Yanga African gwe baamuwaabidde.

Wiiki ewedde, Okwi yeegasse ku Simba ku ndagaano ya myezi mukaaga ekyatabudde aba Yanga ne bamuwaabira mu kibiina ekitwala omupiira mu Tanzania (TFF) nga bamuvunaana okwegatta ku Simba ng’akyalina endagaano ya myaka ebiri nabo.  

Ssentebe wa Yanga, Yusuf Manji yategeezezza ku mukutu gw’amawulire ogwa Citizen nti, “Okuggyako nga Okwi asasudde doola 500,000  (akawumbi kamu n’obukadde 300 mu za Uganda)tetugenda kumukkiriza kuzannya mupiira mu Tanzania kuba akyalina endagaano yaffe era CAF ne FIFA ensonga bazimanyi.”

Okwi yeegatta ku Yanga mu December wa 2013 ng’ava mu SC Villa.

MASSA AWAGA

Omuteebi wa Cranes, Geoffrey Massa yeeyanjudde mu kutendekebwa e Lugogo wansi w’omutendesi Frank ‘Video’ Anyau n’abazannyi abaasigala mu nkambi ng’awaga. Cranes ezannya Guinea ku Lwokusatu.

EMMA OKWI: Yanga y’e Tanzania emukubye mu mbuga lwa kugifera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...