Bya Musasi waffe
Togo 1-0 Uganda
UGANDA Cranes esigazza ekibalo kimu kyokka kya kuwangula Ghana ne Guinea bw’eba yaakuzannya empaka za Afrika e Morocco omwaka ogujja.
Eggulo, Cranes yalwanye masajja wabula Togo n’egisinza amaanyi n’egikuba ggoolo 1-0 mu kibuga Lome ekya Togo ekyasannyalazza emikisa gya Uganda okuyitamu. Uganda yasemba okuzannya eza Afrika mu 1978 bwe yakubwa Ghana, abaazitegeka ku fayinolo.
Okuwangulwa Togo kuwadde Cranes olusozi gambalagala kuba yasigadde ku bubonero 4 sso nga Togo yagiyiseeko n’eweza 6 nga kati yeetaaga obubonero 4 mu mipiira ebiri gy’esigazza, eyitemu.
Uganda okuyitamu obutereevu, yeetaaga kuwangula Ghana, gy’ekyaza e Namboole, wamu ne Guinea gy’ekyalira omwezi ogujja.
Omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic, yawadde abazannyi be ekiragiro kya kulumba bwe yaleese abateebi babiri (Geoffrey Massa ne Brian Umony) okwawukana ku muteebi omu gwe yatandisa ku Lwomukaaga, Togo emale ewangule (1-0).
Bannyinimu nga baduumirwa Emmanuel Adebayor, azannyira mu Tottenham, baatandikiddewo okulumba nga banoonya ggoolo ey’amangu kyokka ekisenge kya Cranes ekyabaddemu Denis Guma, Godfrey Walusimbi, Savio Kabugo ne Isaac Isinde, eyasikidde kapiteeni Andy Mwesigwa, ataazannye olwa kaadi eza kyenvu ebbiri, ki kibalemesa okutuusa emipiira ku Denis Onyango.
Togo yayiiyizza akakodyo k’okusaza emipiira egya waggulu mu ntabwe ng’ekigendererwa kya Adebayor okugitomera mu katimba kyokka Onyango bakira agimuggya ku mutwe.
Ekitundu ekisooka kyaweddeko ttiimu zombi zanjala ngalo kyokka mu kyokubiri Togo yatandikiddewo okulumba obutasalako kyokka Cranes n’egumya ekisenge. Mu ddakiika ey’e 70, abazibizi ba Uganda baasumagidde Togo n’eteeba, ekisaawe eky’abaddemu abantu abasoba mu 20,000 ne kisaanuuka.
Micho yaleese Moses Oloya mu kya Khalid Aucho okwegatta ku Brian Majwega gwe yasoose okuyingiza mu kya Brian Umony ne bakola ennumba ku Togo kyokka ggoolo ne zigaana.
Kapiteeni w’olunaku, Massa yayongeddeko n’omuteebi Dan Serunkuuma naye era ggoolo ey’ekyenkanyi n’ebula.
Massa yagezezzaako okulwanira emipiira egya waggulu ng’agwa n’asaba basimule Togo ebisobyo kyokka ddiifiri eyavudde e Somalia ng’aweza buweyi.
Emikisa gya Uganda
Cranes bw’ekuba Ghana mu gw’ezzaako e Namboole, yaakuweza obubonero 7 ng’olwo ejja kuba yeetaaga okukuba Guinea eweze 10, eyitemu.
Singa ekubwa Ghana,okuyitamu, eriba eteekeddwa okukuba Guinea ku bugenyi nga bw’esabirira Ghana ne Togo balemagane mu gwe basembyayo e Tamale mu Ghana.
Singa Ghana eba yakubye Guinea nga bwe kyabadde kisuubirwa, Cranes ebeera yeetaaga kukuba Ghana eweze obubonero 8, olwo esabirire Togo eri ku bubonero 5 ne Guinea 4 (bw’eba yakubiddwa Ghana) balemagane.
Guinea bw’eba yakubiddwa Ghana, yasigadde ku 4 nga bw’eremagana ne Togo gy’ekyalira omwezi ogujja, benkanya obubonero (5) olwo mu gusembayo Cranes n’erwanirira kulemagana kwokka ne Guinea mu gusembayo.
Ekibalo kya Togo:
Yeetaaga kuwangula Guinea gye battunka nayo e Lome (mu Togo). Kitegeeza nti ejja kuba ewezezza obubonero mwenda mu mipiira 5 nga yeetaaga kulemagana ne Ghana ku bugenyi mu mupiira gwayo ogusembayo eyitemu.
Emikisa gya Ghana:
Ghana yeetaaga kuwangulayo omupiira gumu ku ebiri gy’esigazizza (ogwa Uganda e Namboole ne Togo gy’ekyaza omwezi ogujja).
Okuyitamu kwa Guinea:
Okufaananako ne Uganda, Guinea yeetaaga kuwangula mipiira gyayo ebiri egibulayo. Ekyalira Togo e Lome n’okuttunka ne Uganda e Morocco.
tiimu bbiri ezinaakulembera okuva mu bibinja omusanvu wamu n’eyookusatu eneeba esinze okukola obulungi, ze zijja okwegatta ku Morocco (abategesi) okuzannya ez’akamalirizo.
Ebya Cranes bibi