TOP

Villa ekyalidde Entebbe mu liigi ng'abazannyi baayo babanja

Added 25th November 2014

WADDE nga Police FC ye yasooka okuwangula SC Villa n’egobya n’omutendesi Steven Bogere, leero abawagizi baayo (Villa) baakugiwagira bw’enaaba ekyazizza Vipers e Kavumba mu Uganda Premier League.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Leero mu liigi ya Super:
Entebbe - Villa, Nakivubo
KCCA FC- Kira Young, Lugogo
Police - Vipers ,Kavumba
BIDCO- Rwenshama, Kakindu
Lweza - Bright Stars, Wankulukuku

WADDE nga Police FC ye yasooka okuwangula SC Villa n’egobya n’omutendesi Steven Bogere, leero abawagizi baayo (Villa) baakugiwagira bw’enaaba ekyazizza Vipers e Kavumba mu Uganda Premier League.

Villa, ekyalidde Entebbe FC e Nakivubo mu mupiira gwe yeetaaga okuwangula nga bw’esabirira
Police ewangule Vipers yo (Villa) erinnye ku ntikko. Villa, eri mu kyakubiri n’obubonero 19 ate
Vipers ekulembedde erina 20.

Singa Police ewangula, Villa n’ekuba Entebbe ejja kulinnya ku ntikko ekifo ky’ebadde emaze omwezi mulamba nga tekikwata.

E Lugogo, abakungu ba KCCA FC, leero lwe basiibula abadde omutendesi waabwe George Nsimbe mu butongole kyokka baagala bamusiibuze buwanguzi nga bamegga Kira Young.

Nsimbe, yategeezezza nti omupiira guno gwe gumu ku gy’asinga okwagala okuwangula ayabulire
ttiimu nga musanyufu.

E Kavumba, okuva Police lwe yakubirayo SC Villa (3-1), omutindo gwayo guddiridde nnyo ekiwadde omutendesi wa Vipers Edward Golola essuubi nti agenda kuggyayo obuwanguzi.

Vipers tennakubwamu mu mipiira munaana gye yaakazannya sizoni eno. Police yasemba kuwangulwa SC Simba ggoolo 1-0 omwayo kyokka mu gwasembyeyo, baalemaganye ne Entebbe (0-0).

Villa ekyalidde Entebbe mu liigi ng’abazannyi baayo babanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.