TOP

Micho ne Bobby ku minzaani

Added 26th November 2014

LEERO (Lwakusatu), omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic asisinkana bannamawulire omulundi ogusoose okuva Cranes lwe yawanduka mu za Afrika wiiki ewedde

LEERO (Lwakusatu), omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic asisinkana bannamawulire omulundi ogusoose okuva Cranes lwe yawanduka mu za Afrika wiiki ewedde. WILLIAMS DAVID KIBANGA NE LYDIA MBASEGE bakulaze enjawulo wakati we ne Bobby Williamson gwe yaddira mu bigere.

Abazannyi abazuuliddwa Bobby:

Godfrey Walusimbi; ebintu bya Nistroy Kizito byali tebitegeerekeka bulungi, ng'oluusi agamba nti ajja ate nga talabikako, ne kiwaliriza Bobby okuteekawo Jjajja Waalu eyali asinga nnamba 3 mu liigi ya Uganda mu biseera ebyo.

Yazannya bulungi omupiira gwe ogwasooka nga Cranes ezannya ne Angola ku bugenyi mu 2012 mu z'okusunsulamu abeetaba mu World Cup.

E Namboole ku gwa Senegal, yaddamu okukakasa nti asobola okuzannyira ttiimu y'eggwanga.
Isaac Isinde; Isinde yalwawo ng'azannya bulungi mu liigi kyokka nga tewali amulaba wabula bwe yeegatta ku St. George eya Ethiopia, Bobby n'amuyita mu bwangu.

Emma Okwi; Omutindo gwe yayolesa mu Simba (Tanzania) ku mulundi ogwasooka gw’awaliriza Bobby okumuyita kyokka emipiira egisembyeyo, talabiseeko lwa ffoomu mbi.

Henry Kalungi; Waliwo ekiseera Kalungi we yabeereranga mu kisenge wakati ne Andy Mwesigwa nga kizibu okulowooza nti ayinza okukivaamu.

Moses Oloya; Yamala ebbanga ddene ku katebe okutuusa lwe yawamba ennamba nga Dan Wagaluka asuuliddwa.
Dennis Guma; okulwala kwa Simeone Masaba kwaleeta Guma mu nnamba esooka ku Cranes. Bobby yali atera okumuyita naye ng'abeera ku katebe. Yasookera ku gwa Liberia e Kampala mu 2013.

Geofrey Kizito Baba; Yasooka kulabikira mu ttiimu ya bali wansi w’emyaka 20 era ku mupiira gwa Ghana e Nakivubo lwe yasooka okuzannya. Ku gwa Liberia e Liberia mu 2012 mu baali bagenda mu World Cup ya 2014, Bobby n’amuwa ennamba etandika.

 

Aba Micho:

Yunusu Ssentamu; Ye yali omuteebi wa Uganda mu CHAN ku ntandikwa y’omwaka guno. Wadde Micho tamukozesezza nnyo mu kampeyini eyaakaggwa, toyinza kumuggyako kya kumuvumbula.

Khalid Aucho; Okufaananako ne Kizito Baba, yajja mu Cranes oluvannyuma lw’okuzannya omupiira omulungi mu y’abali wansi w’emyaka 20. Kuno bw’ogattako eky’okuba nti yeegatta ku Tusker mu biseera ebyo, Micho yayanguyirwa okumuyita ku ttiimu enkulu.

Farouk Miya; Miya yeegasse ku Cranes omwaka guno oluvannyuma lw’okuzannya obulungi mu gy’omukwano mu mipiira Cranes mwe yeetoolooledde egya 'Cranes Namutima'. Wadde alina emyaka 19 gyokka, Micho amumatira era emipiira egisinga mu kampeyini ya Afrika abadde agitandika.

Brian Majwega; Yasooka kwaka mu CECAFA omwaka oguwedde, Micho kwe kutandika okumuyita, era y’omu ku babadde bakyalina omukisa ku Cranes nga bazannyira waka.

                  Bobby (ku kkono) ng'afala-asira omuzannyi nga tannayingira kisaawe.

Savio Kabugo; Kabugo yatandikira mu CHAN omwaka guno okwefuga ekisenge kya Cranes. Mu kampeyini eno, emipira gyonna agizannye oluvannyuma lwa Micho okusuula Isaac Isinde ate n’alekeraawo okuyita Henry kalungi.

Kizito Luwagga; Yasooka kuzannya Liberia e Namboole omwaka oguwedde era tebyasooka kutambula bulungi kyokka emipiira egizzeeko abadde muzannyi buli omu gwe yeenyumirizaamu ate ng'asobola okukwatirira omupiira.
lKyokka ebitone bya Bobby ne Micho biremeddwa okutwala Uganda mu za Afrika.

Bye bafaanaganya:

Balemedde watono okutwala Cranes mu za Afrika; Bobby yagezaako emirundi esatu, kyokka n'alemererwa okukuba Kenya e Namboole mu za 2010 ate mu 2012, Zambia n'etuggyiramu mu peneti. Ku mulundi guno, Micho yabadde yeetaaga akabonero kamu ku Guinea naye byagaanyi.

Bombi Mulindwa ye yabaleeta. Bobby yeegatta ku Cranes mu 2008, Mulindwa n’amugoba mu 2013 n'aleeta Micho, eyali yaakagobwa e Rwanda.

EBIBAAWULA:

Bobby yawangula CECAFA mu mwaka gwe ogwasooka sso nga Micho yamulema. Cranes yakubiddwa Rwanda mu CECAFA kyokka mu kwekaza Micho yavaayo n’agamba ng'ebigendererwa bye bwe bitaali kuwangula wabula okutendekerayo abaana be yali agenda okuzannyisa mu CHAN. Kyokka ne mu CHAN teyava mu kibinja.

Micho awa omupiira obudde. Kyalinga kizibu okusanga Bobby ng'alaba emipiira gya liigi. Ebiseera ebisinga yagambanga nti “Ttiimu yange ngimanyi” era nga kizibu nnyo Bobby okuyita omuzannyi nga tazannya gwa 'pulo'. Micho alaba emipiira egisinga.

Micho asobodde okufunira Cranes emipiira gy’omukwano mingi okusinga ku gya Bobby. Ku Micho, kumpi buli Cranes lw'ebadde egenda okuzannya omupiira ogw’amaanyi ng'esooka n’efunayo ogw’omukwano.

Magogo yategeeza nga FUFA bw’egenda okukola ekisoboka okufuna egy’omukwano egiwerako kubanga baali bakizudde nti giyamba Cranes.

Bobby teyawulirwako mu luvuuvuumo lwonna olw’okutunda abazannyi ku Micho kiyitiridde. Waliwo n’abalowooza nti oluusi asoowogana n’abazannyi lwa kugaana kubatunda.

Micho aludde mu Afrika; omwaka ogujja aweza emyaka 14o kuva lwe yaleetebwa SC Villa mu 2001. Ng'oggyeeko Villa, atendeseeko Orlando Pirates, St George eya Ehiopia, n'endala. Bobby yajja mu 2008, bwe yagobwa n'agenda mu Gor mahia (Kenya).

Bobby teyakubwako Namboole; Bobby y'omu ku baafula Cranes ttiimu etewunyikamu e Namboole. Yazannya ezimu ku ttiimu zibbingwa nga Senegal kyokka tewali yamukubira Namboole. Micho
likodi eno agiggyeewo omwaka guno bwe yakubiddwa Togo 1-0.

 

Micho ne Bobby ku minzaani

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?