TOP

UCU etandise na maanyi

Added 18th December 2014

SSAABALABIRIZI w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali era nga y’akulira Uganda Christian University e Mukono, akunze abayizi okukozesa emizannyo gya yunivasite okutumbula enkolagana wakati w’amawanga gaabwe.

Bya STEPHEN MAYAMBA


SSAABALABIRIZI w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali era nga y’akulira Uganda Christian University e Mukono, akunze abayizi okukozesa emizannyo gya yunivasite okutumbula enkolagana wakati w’amawanga gaabwe.

Ntagali bino yabyogedde aggulawo empaka za yunivasite z’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika ez’omulundi ogwomwenda ku UCU e Mukono. Yunivasite 44, ze zeetyabye mu mpaka zino ezaatandise eggulo (Lwakusatu) zikomekkerezebwe ku Ssande.

 Ekiseera kye mugenda okumala nga muzannya emizannyo gino mugi-kozese okutumbula enkolagana y’ama-wanga nga muyita mu kukola emikwano egigenda okubayamba n’amawanga gammwe,” Ntagali bwe yagambye.

Ntagali era yeebazizza ekibiina ekitwala emizannyo gino ekya East African University Sports Federation, olw’okussa obwesige mu Uganda, naddala UCU okutegeka empaka zino.

Yunivasite zittunka mu mizannyo 18 omuli omupiira, emisinde, okubaka, ttena, ttena w’oku mmeeza, okubuuka, karate, rugby , okuwuga n’emirala.

Mu mpaka ezaasooseewo Rev. Canon Dr. John Ssenyonyi, amyuka akulira UCU, yalaze abakungu abalala nga bw’ali ffiiti bwe yabawangudde mu mpaka z’okutambula okwetooloola ekisaawe omulundi gumu.

Mu mupiira ogwasooseewo, UCU yawangudde United States International University ey’e Kenya ku ggoolo 3-0. Mu Volleyball, Mubs yakubye Zombe ey’e Tanzania ku bugoba 2-0.

 

UCU etandise na maanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...