TOP

KCCA eyokya emezze eya Zanzibar n'etiisa abagivuganya

Added 5th January 2015

ENKYUKAKYUKA omutendesi wa KCCA ze yakoze mu mupiira gwabwe ogwokubiri mu mpaka za Mapinduzi Cup e Zanzibar zaavuddemu ebibala bwe baatimpudde Ntembe FC ey’oku butaka (3-0) ne beesogga ‘quarter’.

Mu Mapinduzi Cup:
Ntembe 0-3 KCCA

ENKYUKAKYUKA omutendesi wa KCCA ze yakoze mu mupiira gwabwe ogwokubiri mu mpaka za Mapinduzi Cup e Zanzibar zaavuddemu ebibala bwe baatimpudde Ntembe FC ey’oku butaka (3-0) ne beesogga ‘quarter’.

KCCA, yasoose kuvumbeera bwe yalemaganye (2-2) ne Azam eya Tanzania ku Lwokutaano era ng’omutindo gwe baayolesa, gwali wansi nnyo.

Nga battunka ne Ntembe mu kisaawe kya Aman Stadium eggulo, omutendesi Abdallah Mubiru yatuuzizza Owen Kasule n’amusikiza Paul Mucwerezi sso nga Yasin Mugume n’asikira Hakim Ssenkumba, eyabadde omulwadde.

Enkyukakyuka zino zaayongedde amaanyi mu nnumba za ttiimu. Herman Wasswa ye yasoose okuteeba mu ddakiika eya
40 bwe yasindiridde ennyanda oluvannyuma lwa William Wadri okusaba abazibizi ba Ntembe n’abaleka nga baavula
n’amusaliza omupiira.

Ntembe yagezezzaako okwerwanako kyokka KCCA n’erinnyisa omutindo gwayo era mu ddakiika ey’e 68, Wadri yateebye eyookubiri n’ayongerako eyookusatu mu y’e 70 eyabakutudde.

Obuwanguzi buno butegeeza nti KCCA, yeesozze oluzannya lwa ‘quater’. Mubiru yagambye obuwanguzi buno bwe bagenda okutandikirako kaweefube waabwe okweddiza ekikopo kino kye baawangula omwaka oguwedde.

Omuwanguzi afuna doola 10,000 (mu za Uganda obukadde 27), KCCA bw’ewera nti erina okudda nabwo e Kampala.
Eggulo, KMKM (Zanzibar) yazannye ne Azam eya Tanzania,omuzannyira Brian Majwega.
Bano ne KCCA bali mu kibinja kimu ekya B.

 

KCCA eyokya emezze eya Zanzibar n’etiisa abagivuganya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...