TOP

KCCA EWONYE SIMBA

Added 7th January 2015

KCCA FC, eri mu ‘Mapinduzi Cup’ e Zanzibar, eggulo yafunye essanyu lya nnabansasaana bwe yeesozze ‘quarter’ ate era ne yeewala okusisinkana Simba FC (Tanzania), emu ku zisinga okutiisa mu mpaka ezo.

Bya HUSSEIN BUKENYA, ZANZIBAR


KCCA 2 Mtende (Zanzibar) 1

Azam 1 KMKM (Zanzibar) 0

Yanga 4 Polisi (Zanzibar) 0

Simba 1 JKU (Zanzibar) 0

KCCA FC, eri mu ‘Mapinduzi Cup’ e Zanzibar, eggulo yafunye essanyu lya nnabansasaana bwe yeesozze ‘quarter’ ate era ne yeewala okusisinkana Simba FC (Tanzania), emu ku zisinga okutiisa mu mpaka ezo.

Ggoolo ya Mike Birungi mu ddakiika ey’e 89 ye yatakkuluzza KCCA ku bannyinimu abaafunye ggoolo ey’ekyenkanyi mu y’e 73 ne basazaamu eya Herman Wasswa mu y’e 58. KCCA yawangudde ggoolo 2-1.

Omutendesi wa KCCA, Abdallah Mubiru, yategeezezza ku Mmande nti tayagala bazannye Simba ku ‘quarter’ kubanga bagikubye enfunda nnyingi nga ku luno abeera agisuubira okubafiirako, Eggulo, yasanyuse bya nsusso ng’omupiira guwedde n’agwa abazannyi be omu kw’omu mu kifuba okubeebaza obuwanguzi.

Obuwanguzi buno bwatuusizza KCCA okumalako n’obubonero 7 mu kibinja B ng’okukikulembera, yabadde esabirira Azam (Tanzania) ereme kuwangula Mtende (Zanzibar) (gwe gwazzeeko eggulo), oba obutagiwangulira ku ggoolo zisukka bbiri. Azam yabadde ku bubonero 4 nga bw’ewangula yenkana ne KCCA

Awangula ekibinja B, waakusisinkana omu ku babiri abanaasinza obubonero mu banaamalira mu kyokusatu okuva mu bibinja ebisatu ate owookubiri mu B waakuttunka ne Mtibwa (Tanzania), eyakutte ekyokubiri mu kya C.

Simba yakubye JKU (Zanzibar) (1-0) n’ekulembera ekibinja nga kati erinze owookusatu omulala ku banaasinza obubonero. Yanga eya Tanzania yakulembedde A.

KCCA yawangula Simba (1-0) ku fayinolo omwaka oguwedde.

 

KCCA EWONYE SIMBA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...