
EBIGAMBO Pulezidenti Museveni bye yayogeredde ku leediyo biyinza okuyamba FUFA okukulaakulanya omupiira n’okutuusa Cranes mu mpaka z’a Afrika.
Wadde nga Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo yasaba Bannayuganda bamugumiikirize okutwala Cranes mu z’Afrika okutuusa mu 2019, ebigambo bya Pulezidenti Museveni kino bikiwakanya.
Pulezidenti Museveni bwe yabadde abuuziddwa oba anaakomawo mu 2016 okwesimbawo, yagambye nti ye ekyo si ky’atunuulira wabula yettanira kukola mirimu gyamukwasibwa Bannayuganda mu ngeri ematiza.
“Abantu ne bannabyabufuzi abamu bakomye okutunuulira eby’omu maaso nga ne bye balina mu ngalo oba mu maaso tebannabikola oba bwe baba babikoze ng’enkola tematiza” bwe yagambye.
Yannyonnyodde nti bwe baali mu nsiko buli omu yakolanga emirimu egimuweereddwa ng’abagikola obulungi bayongerwa emirala n’okukuzibwa.
“Buli muntu asaanye akole emirimu gye n’obwesimbu era amatize bakama be nti by’akola abitegeera sso si kulowooza ku bya mu maaso nga n’ebya leero biremye by’okola kati bye bisalawo ebiseera ebiddako,” Pulezidenti Museveni bwe yategeezezza.
Bapulezidenti ba FUFA bangi bazze basuubiza okutuusa Cranes mu mpaka z’Afrika kyokka nga tebakoze mirimu gye balina kukola okusobola okutuukiriza obweyamo buno.
Lawrence Mulindwa bwe yali yaakajja yasuubiza okutwala Cranes kyokka kampeyini ennya zonna zaagaana. Magogo bwe yakomye ku munaabo okutwala Cranes mu Equatorial Guinea, n’asalawo asuubize mu 2019.
Nneeyambisizza ebigambo bya Pulezidenti Museveni kubanga bituukira bulungi ku nsonga lwaki Uganda okuva mu 1978 empaka za Afrika ezikonga lusu.
Singa Magogo taakyuse mu nkola, n’ebitongole omuli gavumenti, abaamawulire, abawagizi ne kkampuni, nabyo ne birema okukola emirimu gyabyo, ajja (Magogo) kunnyuka ngalo nsa.
Buli kitongole kikole emirimu gyakyo, FUFA erwane okuzzaawo liigi ey’amaanyi, ezimbe ttiimu omuli U-17, 20 ne 23, abawagizi bawagire, kkampuni ziveeyo ziteekemu ensimbi, gavumenti nayo esseemu ezeetaangisa (ssente) n’okukola amateeka, abaamawulire bakole ogwabwe n’ebirara.
Singa ebyo bikolebwa, Uganda ejja kugenda mu mpaka za Afrika, era pulezidenti yenna owa FUFA aba tajja kusanga buzibu, naye okusuubiza mu 2019 toli Katonda, oba olimba.
kateregaya@yahoo.com 0782077016
FUFA eyigire ku Pulezidenti Museveni