
Bya H. BUKENYA, ZANZIBAR
Mu Mapinduzi Cup:
Polisi (5) 0-0 (4) KCCA
Azam (6) 1-1(7) Mtibwa
OMUTENDESI wa KCCA, Abdallah Mubiru alinze kunnyonnyola bakungu ba ttiimu eno ekyavuddeko ttiimu okuvumbeera mu kikopo kya Mapinduzi Cup.
KCCA, yakubiddwa Polisi eya Zanzibar ku peneti 5-4 oluvannyuma lw’okulemagana (0-0) mu ddakiika 90. Okuwanduka kwa KCCA kulese abakungu baayo beebuuza lwaki ttiimu yaabwe yavumbedde.
KCCA, abaawangula ekikopo kino omwaka oguwedde, bazze bazannya kyokka ng’omutindo gwabwe tegumatiza.
Abakungu beebuuza ekyatuuse ku ttiimu yaabwe eyayolesa omutindo omusuffu mu mpaka ze zimu
omwaka oguwedde, nga bagamba nti waakiri yandiwandukidde ku semi.
Omu ku bakungu ba KCCA, ataayagadde kwatuukiriza mannya yategeezezza nti baakwekkenneenya
omutindo gwa ttiimu yaabwe amangu ddala nga ttiimu emu etuuse mu ggwanga.
Abawagizi ba KCCA baakwevuma bazannyi baabwe Simon Namwanja, Ivan Ntege ne William Wadri abaalemeddwa
okunywesa peneti zaabwe.
KCCA, evuddemu abazannyi okuli; Brian Majwega eyeegatta ku Azam eya Tanzania, Richard Kasagga eyagenda okugezesebwa e Lebanon sso nga Brian Umony teyagenda nabo Zanzibar olw’ebigambibwa nti ali mu nteeseganya ne St. George (Ethiopia) ne Gor Mahia (Kenya).
Mu ngeri y’emu, Azam ya George Nsimbe ne Majwega nayo yawandukidde mu peneti (7-6). Baasoose kulemagana ne
Mtibwa Sugar ggoolo 1-1 mu 90.
Ebya Mubiru byonoonese mu KCCA