TOP

Villa ewera kwesasuza Police

Added 13th March 2015

SC VILLA, eyookubiri mu liigi ya babinywera, ne Police FC, eyoomunaana, zisisinkanye leero (Lwakutaano e Nakivubo) nga batabani ba Ben Misagga (Villa) baagala kwesasuza bamukwatammundu.

Bya BASASI BAFFE

Lwakutaano mu liigi:

SC VILLA - Police e Nakivubo

Sadolin - Rwenshama e Kakindu

Lweza - Soana e Wankulukuku

Victoria - Express e Namboole

SC VILLA, eyookubiri mu liigi ya babinywera, ne Police FC, eyoomunaana, zisisinkanye leero (Lwakutaano e Nakivubo) nga batabani ba Ben Misagga (Villa) baagala kwesasuza bamukwatammundu. 

Mu liigi ya sizoni eno, Police FC ye yasooka okukuba Villa (2-1) e Kavumba ekyavaako okugobwa kw’omutendesi Stephen Bogere n’asikirwa Sam Ssimbwa.

Deborah Nakamaanya, omu ku bawagizi nfanfe ba Villa, yagambye nti bagenda kugenda bangi e Nakivubo bawagire ttiimu yaabwe yeesasuze Police.

Yagasseeko nti ekikopo kya sizoni eno balina emikisa egikitwala. Villa erina obubonero 39 ate Vipers 41 mu mipiira 17. 

Villa ewera kwesasuza Police

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...