TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omutendesi wa Express alaajanidde abazannyi: 'Munnyambe muwangule'

Omutendesi wa Express alaajanidde abazannyi: 'Munnyambe muwangule'

Added 14th April 2015

AKAKIIKO akaddukanya Azam Uganda Premier League okuwa Villa obubonero busatu ne ggoolo ssatu, ne KCCA FC n’ewangula Rwenshama ku Lwomukaaga, kyayongedde ebbugumu mu kuvuganya ku kikopo kya sizoni eno.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Express- Rwenshama e Wankulukuku

Police - KCCA e Kavumba

URA -Sadolin, Lugazi

Entebbe - Victoria, Bugonga

AKAKIIKO akaddukanya Azam Uganda Premier League okuwa Villa obubonero busatu ne ggoolo ssatu, ne KCCA FC n’ewangula Rwenshama ku Lwomukaaga, kyayongedde ebbugumu mu kuvuganya ku kikopo kya sizoni eno. 

Omupiira gwa Express ne Villa ogwayiika nga bakyalemaganye (1-1) e Wankulukuku omwezi oguwedde, akakiiko kaazudde ng’abawagizi ba Express be baavaako obuzibu era obubonero ne buweebwa Villa.

Kati Villa yawezezza obubonero 46 ate Vipers ekulembedde erina 49 ssonga KCCA FC erina 44 mu kyokusatu nga singa ewangula Police, gy’ekyalira leero e Kavumba, ejja kusula mu kyakubiri.

Omutendesi wa KCCA FC, Abdallah Mubiru awera kuwangula asobole okutangaaza emikisa gy'okweddiza ekikopo sso nga ne Police egamba nti ng’umu kuba yaakakuba Kira Young (4-0).

" Nkimanyi nti Police nzibu nnyo naddala e Kavumba kyokka naffe tumaliridde okugifunako obuwanguzi," Mubiru bwe yategeezezza.

KCCA yasembyeyo kuwangula Rwenshama (3-0), Mubiru ky’agamba nti singa abazannyi be bagenda e Kavumba n'omutindo bwe gutyo waakuvaayo n'obuwanguzi.

E Wankulukuku,  omutendesi  wa Express, Wasswa Bbosa alaajanidde abazannyi be okuwangula Rwenshama gye bakyaza leero, wadde tebannasasulwa.

“ Wadde temunnafuna sssente zammwe, muzannyise bumalirivu muwangule kizze mu bakama baffe amaanyi batusasule," Bbosa bwe yategeezezza oluvannyuma lw'okutendekebwa eggulo e Wankulukuku. 

Express, eyawangula liigi mu 2012, yakubiddwa Sadolin 2-1 e Wankulukuku ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

 E Lugazi,  Alex Isabirye atendeka URA, yeeraliikiridde omutindo gwa Sadolin FC gw’ezannyirako ng'ekyalidde ttiimu ennene, era alabudde abazannyi obutaginyooma.

Mu gw’ekyasembezzaayo, Sadolin yalumbye Express e Wankulukuku n'egikubirayo (2-1) nga ne KCCA  yagikuba ggoolo ze zimu e Lugogo, sso ng’era mu mipiira ena egisembyeyo tekubiddwaamu.

Omutendesi wa Express alaajanidde abazannyi: ‘Munnyambe muwangule’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...