TOP

She cranes ekakasizza okwetaba mu world cup

Added 8th May 2015

SHE CRANES ekakasizza okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna abakungu bwe baweerezza amannya g’abazannyi 20 nga erimu ku mateeka bwe gabeetagisa.

Stephen Mayamba

SHE CRANES ekakasizza okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna abakungu bwe baweerezza amannya g’abazannyi 20 nga erimu ku mateeka bwe gabeetagisa.

Omuwendo gw’abazannyi gukendeezeddwa okuva ku 30 abasooka okuyitibwa okutandika okutendekebwa okutuuka ku 20 era amannya ga bano ne gaweerezebwa mu kibiina ekifuga omuzannyo gw’okubaka okwongera okukakasa nti Uganda egenda kwetaba mu World Cup egenda okubeera mu kibuga Sydney ekya Australia wakati wa 7 ne 16 August 

Bano bagenda kutandika okutendekebwa okwa kaasameeme era mwe mujja okulondebwa abazannyi 12 abagenda okutwalibwa mu World Cup egenda okwetabwamu amawanga 16 . Uganda eri mu kibinja D ne Fiji, Wales ne Zambia.

Amannya g'abazannyi 20 agawerezeddwa kuliko; Peace Proscovia (kapiteeni), Lukia Meeme, Stella Oyella, Hadijja Nakabuye, Florence Amono, Irene Eyaru, Racheal Nanyonga, Jessica Achan, Halima Nakacwa,Carol Alupo, Suzan Atino, Suzan Mukala, Elizabeth Atonet, Enid Abalo, Betty Namukasa, Lilian Ajio, Florence Nanyonga, Martha Soigi, Alice Nanteza ne Caroline Badaru.

Mu ngeri yemu kampuni ya Asiatic Sports Limited edduukiridde She Cranes’ n’emijoozi egy’okukozesa mu ttu eribalirirwamu obukadde 50 mu nsimbi za Uganda.

She Cranes basoose kuweebwa mijoozi gwa kutendekerwamu ate ebirala okuli emijoozi n’engato bigenda kubaweebwa nga bagenda okwetaba mu mpaka za Diamond Challenge ezigenda okubeera e South Africa wakati wa 16 ne 21 June e South Africa, baweebwe ebirala nga bagenda okwetaba mu mpaka za Africa Cup y’okubaka egenda okubeera e Namibia wakati 28 June ne 3 July e Namibia n’ebyokukozesa mu mpaka za World Cup ezigenda okubeera e Sydney mu Australia.

Uchandi yasiimye aba Asiatic Sports okubadduukirira nategeeza nti kino kya kubayambako okusittula obwagazi mu bazannyi ne ttiimu yonna okutwaliza awamu kubanga eby’etaagisa bikyali bingi sso ng’obudde bubagwako.

 

She cranes ekakasizza okwetaba mu world cup

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.