TOP

Vipers ewanuddeyo Villa ku ntikko ya liigi ya Azam

Added 9th May 2015

EMIKISA gya SC Villa okusitukira mu liigi ya Azam omwaka guno gyazzeemu kigoyeweezinge bwe yalemaganye ne Victoria SC bwe baasisinkanye e Nakivubo mu luzannya olwokubiri eggulo ku Lwakutaano ne baalemaganye 1-1.

 

BYA SILVANO KIBUUKA         

Ebyavudde mu luzannya lwa liigiya Azam Uganda Premier League ku Lwokutaano

Bright Stars 0-2 Simba

SC Villa 1-1 SCVU

KCC 1-0 URA

Kira Young 0-1 Lweza

Vipers 1-0 Express FC

Police 3-0 BUL

Sadolin 1-0 Entebbe FC

EMIKISA gya SC Villa okusitukira mu liigi ya Azam omwaka guno gyazzeemu kigoyeweezinge bwe yalemaganye ne Victoria SC bwe baasisinkanye e Nakivubo mu luzannya olwokubiri eggulo ku Lwakutaano ne baalemaganye 1-1.

Villa yabadde erina okuwangula okusigala ku ntikko ya liigi ku mugatte gwa ggoolo okuva ne Vipers bwe yakubye Express FC ggoolo 1-0 mu luzannya lwe lumu.

Kati Viper ewanuddeyo Villa ku ntikko ng’eri ku bubonero 63 so nga Villa eri ku 61.

Villa eyasoose okulaga abawagizi ababuutikidde Ekirasa e Nakivubo ne bagobako n’abawagizi ba Victoria SC wabula Ne balemwa okuteeba ebintu byagyonoonekedde mu kitundu kyakubiri.

Omuteebi wa Vipers, Denis Nsubuga eyavudde ku katebe ng’asikidde Fahad Toko ye yasoose okulya empanga bwe yakubye omupiira ebweru w’entabwe ng’azize omukwasi wa ggoolo ya Villa, Nicholas Sebwato eyabadde atambudde mu maaso omupiira ne gumuyita ku mutwe ne gunywa mu katimba Victoria n’ejaganya.

Ggoolo eno yanywedde mu ddakiika ya 70 wabula omuteebi wa Villa, Omunigeria Victor Eminayo n’ateeba eyekyenkanyi ng'ekyenda tezinnatuuka.

Bakasambe yasoose kugaana eyandibadde peneti ya Villa era n’awa omuteebi Steven Bengo kkaadi ya kyenvu ng’amulanga okwesuula mu ntabwe ng’anoonya ggoolo ey’ekyenkanyi.

“Omupiira gutukaluubiridde naye tukyalina omukisa era tulina kuwangula egiddako okutandikira ku Kira Young,” omutendesi Ibrahim Kirya bwe yategeezezza.

“Tusubiddwa okulaga kye tuli naye tuzannye bulungi. Kino kiseera kya basambi kulaga kye balinawo wamu n’abatendesi era buli muzannyi kati asamba ky’amanyi kubanga ekiseera ky’okukyusa ttiimu kinaatera. Tuzze tetudidde Villa wadde nga yatuwangudde mu Uganda Cup gye buvuddeko,” omutendesi wa Vipers Molly Byekwaso bwe yategeezezza.

Enzannya za liigi ziddamu Lwakubiri.

Vipers ewanuddeyo Villa ku ntikko ya liigi ya Azam

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...