TOP

Vipers bagikwasa leero ekya liigi

Added 19th May 2015

VIPERS FC, eya Lawrence Mulindwa, amyuka pulezidenti wa CECAFA, leero lw’ekwasibwa ekikopo kya liigi esoose okusasulirwa kkampuni ya Azam.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Bright Stars - SC Villa e Matugga

KCCA FC - Lweza  e Lugogo

Express - URA FC e Wankulukuku

Vipers - BIDCO e Buikwe

Kira Young - Simba e Namboole

Police - Soana e  Kavumba

Rwenshama - Entebbe e Nakivubo

Sadolin - Victoria e Kakindu 

VIPERS FC, eya Lawrence Mulindwa, amyuka pulezidenti wa CECAFA, leero lw’ekwasibwa ekikopo kya liigi esoose okusasulirwa kkampuni ya Azam.

Omukolo gugenda kubeera Buikwe mu Kyaggwe oluvannyuma lw’omupiira wakati waayo ne BIDCO nga gwe gumu ku munaana egifundikira liigi. Vipers yakubye Villa 2-0.

OKWAWULAKO Simba, Kira Young ne Soana ezigenda okuyingira ensiike ya leero nga zirina ekigendererwa ky’okulwanira obutasalwako, leero  ttiimu endala zonna zizannya kutuusa mukolo.

Wadde Vipers yalangirirwa dda ku bwa kyampiyoni bw’ekikopo kya  liigi y’eggwanga eya  Azam Uganda Premier League leero  ttiimu zonna lwezizannya emipiira gyazo egigalawo lligi mu butongole ku bisaawe eby’enjawulo.

E Buikwe,  abawagizi ba Vipers ababadde tebalabanga ku ttiimu yabwe ng’ewangula ekikopo  leero basuubirwa okweyiwa ku kisaawe  kyabwe  okubaawo nga ttiimu yabwe  ettunka ne BIDCO  mu mupiira  akakiiko ka liigi gwekagenda okukolerako omukolo gw’okugaba ekikopo. 

KCCA FC  yerina ekikopo kino kyebadde yakawangula emirundi ebiri egy’omudiring’anwa. 

OGWA  ENTEBBE FC GUMEZZE VILLA

Bernard Bainaman akulira emirimu gya liigi, yategeezezza nti baakizudde nga Villa yazannyisa Yeseri Waibi mubukyamu nti kyokka Rehma Nakabuye okwemulugunya  yakukola kikerezi. 

Yayongedeko nti kino Nakabuye yalibadde akikola ng’enaku 7 tezinayitawo  omusango lwegwalibadde nekyegukyusa  nti naye okuva lwekiri nti  yakikola kikerezi  tegenda kugibwako bubonero okujako okugiweesa engasi ya mitwalo 30 ezokutyoboola  amateeka g’omupiira .

OLUTALO LW’OBUTAZIBWA MU BIG LEAGUE

Omupiira wakati wa Kira Young ne Simba awangulwa ate Soana n’ekuba Police omwaka ogujja azannyira mu  Big League.

 

 

Vipers bagikwasa leero ekya liigi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu