TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Emivuyo egiri mu FIFA;Abakungu 14 babba obukadde bwa doola 100

Emivuyo egiri mu FIFA;Abakungu 14 babba obukadde bwa doola 100

Added 28th May 2015

ZAABADDE ssaawa bbiri ez''oku makya eggulo, ekitongole kya Amerika ekya FBI ne kizingako wooteeri emu mu kibuga Switzerland awagenda okubeera okulonda kwa pulezidenti wa FIFA omuggya, ne kikwata abakungu 14.

Bya Musasi waffe

ZAABADDE ssaawa bbiri ez'oku makya eggulo, ekitongole kya Amerika ekya FBI ne kizingako wooteeri emu mu kibuga Switzerland awagenda okubeera okulonda kwa pulezidenti wa FIFA omuggya, ne kikwata abakungu 14.

Abaakwatiddwa, baabafunzizza nga teri we bayinza kuddukira era omusango ogwabakwasizza gwa kwenyigira mu kulya nguzi okuva mu myaka gy'e 90 ng'era obukadde bwa doola obusukka mu 100 ze ziteeberezebwa okuba nga zaaliibwa abakungu bano abaasangiddwa ng'abamu beenywera ku caayi nga bwe beesibye ttawulo zaabwe.

Omu ku baakwatiddwa ye mumyuka wa pulezidenti wa FIFA, Jeffrey Webb naye pulezidenti Sepp Blatter teyakwatiddwa. Okubakwata, baabadde beetegekera kulonda pulezidenti omuggya era enkya nga May 29, lwe bamulonda. Abakungu ba FIFA abaliyo bangi era ne pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo n'akulira emirimu, Edgar Watson gyebali.
Abamu ku baakwatiddwa:

Jeffrey Webb: Amyuka pulezidenti wa FIFA. Ava mu bizinga bya Cayman.
Eugenio Figueredo: Ava mu Uruguay.

Eduardo Li: Atuula ku lukiiko lwa FIFA olufuzi. Ava mu Costa Rica.

Julio Rocha: Akola ku byankulaakulana mu FIFA. Y'akulira omupiira mu Nicaragua.

Costas Takkas: Ava mu kibiina kya CONCACAF.

Rafael Esquivel: Atuula ku lukiiko lwa CONMEBOL era y'akulira omupiira mu Venezuela
Jose Maria Marin: Yaliko pulezidenti w'omupiira mu Brazil.

Sente eziyingira mu FIFA
Fifa erina kkampuni ennene mukaaga okuli; Adidas, Coca-Cola, Hyundai-Kia, Emirates, Visa ne Sony era buli emu ewa

FIFA obukadde bwa doola 200 buli mwaka. Kino kitegeeza nti mu zino zokka, FIFA efuna doola 1,200,000,000. Kuno egattako ssente z'efuna mu kkampuni za ttivvi eziraga emipiira gyayo. Mu ngeri yonna, FIFA eyingiramu ssente nnyingi.

Lwaki Abeesimbyewo baakivuddemu?
Blatter, alamuza kisanja kyakutaano ku bwapulezidenti bwa FIFA ng'olwokaano alusigaddemu ne Ali bin al-Hussein owa Jordan. Abalala abaali bamwesimbyemu baakivaamu.

Van Praag, akulira omupiira mu Budaaki ye yasooka okuva mu lwokaano ng'agamba nti enguzi gy'asanze mu FIFA teyinza kumuganya kuyitawo. Yategeeza nti bangi ku balonzi, Blatter yali yabagulirira dda.

Okusinziira ku bbaluwa Figo gye yawandiika ng'alangirira nga bw'avudde ku byokwesimbawo, yategeeza nti eby'okulonda mu FIFA tebirina mugaso. Yagamba nti Blatter takkiriza demokulasiya kuba akimanyi nti singa abeeramu, ayinza okuva mu ntebe eno. Blatter yamwanukula nti yali wa ddembe okwogera kyonna ky'ayagala.


Blatter mu fifa Blatter y'ani?
Yazaaliibwa March 10, 1936 e Switzerland awali ekitebe kya FIFA. Alina diguli mu byenfuna. Teyazannya ku mupiira, yayingira obukulembeze mu FIFA mu 1975 ku myaka 39.

Mu 1985, yafuuka omuwandiisi waakyo ate mu 1998 n'alondebwa ku bwapulezidenti. Oluvannyuma kyategeezebwa nti yali agabye enguzi ya doola 100,000 (obukadde 300) eri abatwala omupiira mu Somalia n'oyo eyali akulira ogwa Afrika okubulya.

ebijjukirwa ku Blatter
Yaperereza banne okuleeta World Cup mu Afrika. Blatter yamatiza banne bwe bafuga omupiira ne baleeta etteeka nga buli ssemazinga egenda kubeerangamu World Cup era South Afrika n'akiwangula ku lwa Afrika.

Afrika yali yaakamala okutegeka ekikopo kino, etteeka lino ne livaawo era kati basinziira ku busobozi n'obululu bw'ofuna okusobola okutegeka ekikopo kino.

Akakodyo k'okubala ggoolo
Akakodyo k'okukozesa tekinologiya okubala ggoolo aka 'Goal Line Technology' kazze ku mulembe gwe wadde kyabatwalira emyaka 10 okukkiriza tekinologiya w'ekika kino.

Enguzi mpitirivu mu FIFA
Abamu ku bakungu abaakwatiddwa eggulo enguzi baagirya mu gy'e 90. Abalala baagiridde mu 2000 sso ng'engeri Qatar ne Russia gye zaafunamu olukusa okutegeka World Cup nayo erimu ebirumira era FBI yatandise dda okuginoonyerezaako.

Ajunye ebibiina by'omupiira ebyavu
Mu Uganda, ssente ezaazimba Njeru Technical Center zaava mu FIFA. Gye buvuddeko, Blatter yawadde FUFA akawumbi mwe baakoze FUFA Radio. Kino Blatter akikola mu mawanga mangi mu Afrika ne ku ssemazinga wa Asia ne South Amerika. Abamu baabijweteka nti kino akikola kufunirako bululu.

Tatya biduduma
Singa Blatter yali mutiitiizi, Russia ne Qatar tebandifunye mukisa kutegeka ku World Cup. Kumpi Bulaaya yonna temwagala, e Bungereza tebamwogerako birungi.

mukulembeze 'ntebe ewooma'
Yatandika okufuga omupiira mu June wa 1998 naye kati alamuza kisanja kyakutaano. tekibadde kyangu abakulembeze okuva mu mawanga g'Abazungu kuyingira kirowoozo kya ntebe ewooma naye Blatter, akirina.

Omupiira gw'abakazi
Agamu ku magoba amayitirivu Blatter g'akola okuva mu FIFA, agasindiseeko mu kukulaakulanya omupiira gw'abakazi. Buli mwaka, FUFA efuna ssente okuva mu FIFA ng'omugaso gwazo omukulu gwa kukulaakulanya mupiira gw'abakazi.

 

Emivuyo egiri mu FIFA;Abakungu 14 babba obukadde bwa doola 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...