TOP

Engeri gyoyinza okukekkereza amafuta mu mmotoka yo

Added 28th May 2015

OLI okukuwa ekibonerezo ky’okusimbula emmotoka nga temuli mafuta, waakiri ogalamira n’akulya obuti ku nnyama ya gavumenti n’omanyirira...

Bya EDWARD SSERINNYA

OLI okukuwa ekibonerezo ky’okusimbula emmotoka nga temuli mafuta, waakiri ogalamira n’akulya obuti ku nnyama
ya gavumenti n’omanyirira...

Osobola okuvuga emmotoka ekubagana n’ekugumiikiriza okutuusa lw’ogikanika, wabula tesobola kukugumiikiriza bw’eggwaamu amafuta.

Obeera olina okugateekamu n’etambula. Kino kitegeeza nti ekyetaago kya mmotoka buli lunaku ge mafuta. N’olwekyo, obutakumalaako nsimbi osaanye okumanya engeri gy’olina okugakekkerezaamu.

Paul Kaganzi, Ambasada w’amafuta ga Shell Uganda ate nga mukugu mu by’amafuta akusongedde ku bintu musanvu ebikuyamba okukekkereza amafuta, emmotoka n’etekufuukira kizibu.

Okusookera ddala, olina okukimanya nti ekidduka kyonna kyeyambisa ebintu ebikulu bisatu okutambula. Ge mafuta, omuliro ogukuma amafuta n’empewo eyingira mu yingini. Era amaanyi ga mmotoka gasinziira ku muliro oguba gukumiddwa.

Wammanga by’ebintu omusanvu ebinaakuyamba okukekkereza mafuta. Envuga: Eno ekola kinene ku mmotoka okukekkereza amafuta oba obutakekkereza.

Buli lw’ovuga endiima, emmotoka ebeera ekunywa nnyo olw’okuba n’omuliro ogulinnye nnyo. Kyandibadde kirungi
n’ovugira mu sipiidi 80 - 100.

Wano emmotoka ebeera mu ggiya eziwewuka, sso ng’ate bw’ovuga sipiidi eya wansi ennyo, obeera mu ggiya nnene ekitegeeza ne wano ebeera ekunywa nnyo.

Bw’osussa 100, ate mmotoka ebeera ekozesa amaanyi mangi Ebintu 7 ebinaakuyamba okudduka ekitegeeza kwongera
kukunywa, okuggyako ng’olina ky’ogoba.

Endabirira ya yingini (kino olumu bakiyita ‘tuning’: Singa olema okulabirira obulungi emmotoka yo nga togityuninga kugizza ku mulembe oba okugituusa mu mbeera gye baagikoleramu, kimanye nti ejja kuba ng’ekunywa nnnyo amafuta. Kino kitegeeza emmotoka yo gitwale ku saaviisi mu bbanga eriragiddwa agikozeeko.

Ku saaviisi, kirungi ne bakebera ekyangwe ekisengejja empewo okebere n’ebirala. Oyo avuga emmotoka mu bitundu ebirimu enfuufu ennyingi, kirungi n’otolinda na saaviisi kuggwaako. Bw’otokikola, ejja kukutawaanya.
Akasengejja woyiro (oil fi lter), oteekeddwa okukakyusa buli lw’okola saaviisi.

Ku mmotoka eya petulooli, akasengejja amafuta (fuel fi lter) kakyuse buli luvannyuma lwa kirommita emitwalo 10, ate eya dizero kakyuse buli lw’okola saaviisi.

Kino kikulu nnyo eri abavuga mmotoka enkadde. Emmotoka ennaku zino za masannyalaze. Pulaaga zitereeze era
buli lwe zibeera ennamu, enywa kitono.

Tekinologiya; Bw’oba ogula emmotoka, funa ezo ezirina yingini eza D4, VVTi oba EFI. Zino ziyiwayo amafuta okusinziira ku bwetaavu bwa mmotoka. Wabula yingini ya D4 wano mu Uganda abamu bagyevuma olw’okuboola amafuta. Eno
yeetaaga amafuta amayonjo, kale tomala gagitwala ku buli ssundiro ly’amafuta ly’osanze.

Emipiira emirungi; Bw’oba mu kidduka, ekintu ekiri wakati wo n’oluguudo gy’emipiira. Singa emipiira giba nga gitambula bulungi, nga giriko enjola, gisika mangu emmotoka nga tekozesa maanyi mangi.

Kino kitegeeza kunywa kitono. Naye enjola kasita zikendeera, omupiira gutandika okuseerera, mmotoka n’eba  ng’enywa nnyo. Bw’oba ovuga, togiwulira nti eseerera, naye nga kino ky’ekibaawo.

Embeera endala ereetera emmotoka okunywa ennyo amafuta ng’eva ku mipiira, y’eyomukka.
Buli lw’ovuga emmotoka ng’emipiira temuli mukka oguteekeddwa okubaamu, emmotoka ekozesa amaanyi mangi.
Okutikka emmotoka akabindo; Singa emmotoka ogitikka kkiro z’eterina kutikka, manya nti amaanyi ga yingini ge baagiwa okutikka ogayisizzaawo.

Kitegeeza nti yingini ejja kukusaba amaanyi ag’enjawulo okutambula n’ekiddirira kwe kwongera okunywa amafuta. Woyiro; Emmotoka buli lw’ogiteekamu woyiro azitowa, nayo etambula ezitoowererwa. Abamu balowooza nti woyiro azitowa ye mulungi, ne batamanya nti woyiro awewuka ye mulungi.

Woyiro awewuka buli lw’okoleeza ekisumuluzo, ayanguwa okulinnya.
Kaganzi ayongerako nti woyiro omutuufu alina okuba nga yakakakasibwa akakiiko ka bayinginiya abakugu mu bya woyiro ak’ensi yonna aka ‘Society of Automotive Engineers’ (SAE).

Era akadomola oba akakebe ka woyiro omutuufu kalina okubaako ennukuta SAE.
Mu mbeera za Uganda, woyiro waffe abeerako ennukuta SAE15W - 40, oba nga kuliko 05W40.
Envuga ya wano, oluba okussaamu ekisumuluzo oli ng’asimbula, ku woyiro azitowa alwawo okulinnya, kiba kitta emmotoka yo era awo we wasinga okuva okufa kwa yingini za mmotoka ezisinga wano mu Uganda.

Kirungi bw’okoleeza emmotoka, n’ogiwaamu ebbanga lya ddakiika waakiri ttaano, ne kiyamba woyiro okulinnya olwo
n’osimbula.

Ekika kya mmotoka: Ennaku zino engeri ssente gye zibuze, kiwa amakulu mangi omuntu okuvuga emmotoka eya yingini entono okuva ku cc1300 okutuuka nga ku 1800. eno ejja kukuyamba okukekkereza amafuta ate ng’ekutuusa
gy’olaga mu budde nga teweejalabizza

EBIKA BY’AMAFUTA EBIRIWO

 Waliwo dizero ne petulooli. Wabula mu petulooli gye buvuddeko mubaddemu ekirungo kya Lead nga kino kigayamba okuba n’amaanyi ag’enjawulo.

 Naye oluvannyuma kyazuulwa ng’ekirungo kino kirina obulabe ku butonde bw’ensi, kwe kuleeta amafuta aga Unleaded.
Gano gabaamu ebirungo ebiyamba okwoza ebifettefette mu mmotoka.

 Waliwo n’aga V-Power. Gano gajja matabule okuva ebweru era galongoosa yingini ate tegagenda nnyo. Era ga bbeeyi okusinga ku malala. 

Engeri gyoyinza okukekkereza amafuta mu mmotoka yo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...