
Bya HUSSEIN BUKENYA
Enkya mu gw’omukwano:
Cranes - Gambia e Namboole
Lwamukaaga mu za Afrika:
Uganda - Botswana e Namboole
Micho Sredojevic omutendesi wa Cranes okutendekebwa ttiimu akwongeddemu amaanyi bw’agitutte mu nkambi n’asuula n’abazannyi 15 nga yeetegekera okuttunka ne Botswana mu gw’okusunsulamu abalizannya eza Afrika ku Lwomukaaga e Namboole.
Eggulo, Micho yasunsudde abazannyi 26 b’agenda okukozesa ku Cranes eyeetegekera okuzannya egy’okusunsulamu abalizannya empaka za Afrika za 2017 n’abatwala ku Sky Hotel okwetegekera Gambia gye basooka okuzannya nayo ogw’omukwano ku Lwokubiri.
Abamu ku bazannyi abaasuuliddwa kuliko; Ibrahim Kiyemba, Muzamir Mutyaba, Martin Mpuuga, Julius Ntambi, Frank Kalanda n’abalala. Micho awezezza wiiki nnamba nga ttiimu z’eggwanga ssatu (ey’abatasussa myaka 23, Cranes ya CHAN ne Cranes eyeetegekera eza Afrika) azitendekera wamu kyokka eggulo yasunsuddemu 26 ng’ayagala ayongere okwetegereza abasigaddewo.
” Twagadde essira tulisse ku Cranes enkulu kubanga emipiira gyayo gituuse ttiimu endala zijja kutwegattako oluvannyuma,” Micho bwe yategeezezza.
ABA GAMBIA BATAKA:
Mu ngeri y’emu ttiimu y’eggwanga eya Gambia egenda okuzannya ogw’okwegezaamu ne Cranes enkya yatuuse eggulo (Sande) ku makya. Ekibinja ky’abantu 28 okuli abazannyi 20 n’abakungu 8 be bazze kyokka baasoose kugaana wooteeri ya Muyenga International Hotel nga bagamba nti omutindo gwayo tegubagyamu kwe kusalawo okunoonya endala.
ABAZANNYI MICHO B’ASIGAZIZZA:
D. Onyango, R. Odongkala, J. Alitho, I. Isinde, D. Guma, A. Kakuba, B. Ocho, R. Kasagga, S. Bakaki, H. Wasswa, D. Tekkwo, K. Aucho.
Abalala kuliko; B. Zirintusa, Y. Mugerwa, K. Kizito, F. Miya, S. Kyeyune, K. Luwagga, G. Walusimbi, B. Majwega, G. Massa, R. Ssentongo, B. Umony, Y. Ssentamu ne J. Semazzi.
Micho asudde abazannyi 15